Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (A)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (B)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (C)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (D)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
9 (A)“Ani gw’agezaako okuyigiriza?
Ani gw’annyonnyola obubaka bwe?
Abaana abaakalekayo okuyonka
oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga kola okole, kola okole
Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
Wano katono na wali katono.”
11 (B)Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo
n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12 (C)abo be yagamba nti,
Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye,
era kye kifo eky’okuwerera
naye ne bagaana okuwuliriza.
13 (D)Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali
kola okole, kola okole,
ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
wano katono na wali katono,
balyoke bagende bagwe kya bugazi,
era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.
Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa
7 (A)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. 8 (B)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. 9 (C)Musembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 (D)Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 (E)Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo
12 (F)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (G)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (H)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (I)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (J)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?
18 (K)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”
19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.