Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
12 (A)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (B)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (C)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (D)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
Amaziya Kabaka wa Yuda
14 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka. 2 Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi. 3 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. 4 (A)Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo. 5 (B)Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe. 6 (C)Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.” 7 (D)Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera[a] mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.
8 Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.” 9 (E)Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 10 (F)Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”
11 (G)Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 12 (H)Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe. 13 (I)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda. 14 N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya.
Olugero lw’Omusizi
4 (A)Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo. 2 (B)Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti, 3 (C)“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. 4 Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. 6 Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. 7 Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. 8 (D)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”
9 (E)N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”
10 Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera. 11 (F)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”
12 (G)“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza,
era n’okuwulira bawulira naye tebategeera,
si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13 “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? 14 (H)Omusizi asiga ekigambo y’asiga. 15 (I)Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako. 16 Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu. 17 Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako. 18 Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, 19 (J)naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. 20 Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.