Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
5 “Emmeeme eyonoona ye erifa,
omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
6 (A)nga talya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
7 (B)omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
naye emmere ye agigabira abayala,
n’ayambaza n’abali obwereere;
8 (C)atawola lwa magoba
newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
era asala emisango egy’ensonga.
9 (D)Agoberera ebiragiro byange,
n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
era aliba mulamu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
10 (E)“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 (F)n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 (G)n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;
omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
14 (H)“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 (I)atanyigiriza muntu yenna
newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
n’abali obwereere
n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.
Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 (A)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 (B)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 (C)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 (D)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (E)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 (F)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.