Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli Ya Dawudi.
103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 (B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 (C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
7 (D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8 (A)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9 (B)Taasibenga busungu ku mwoyo,
era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (C)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (D)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (E)Ebibi byaffe abituggyako
n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
13 (F)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
Yusufu Atundibwa Baganda be
12 Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe. 13 Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.” 14 (A)N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.
15 Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.” 17 (B)Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. 18 (C)Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.
19 Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja. 20 (D)Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;[a] tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”
21 (E)Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. 22 Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.
23 Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde: 24 (F)ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.
25 (G)Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.
26 (H)Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe? 27 (I)Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.
28 (J)Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri. 29 (K)Lewubeeni bwe yadda n’alaga ku bunnya n’alaba nga Yusufu taliimu, n’ayuza engoye ze, 30 (L)n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?”
31 (M)Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi. 32 Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”
33 (N)N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”
34 (O)Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene. 35 (P)Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.
36 (Q)Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.
Mwagalanenga
11 (A)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 12 (B)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 13 (C)Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 14 (D)Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 15 (E)Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 (F)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.