Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 17-19

17 (A)Omutima gwange gwennyise,
    ennaku zange zisalibbwaako,
    entaana enninze.
(B)Ddala abansekerera bannetoolodde;
    amaaso gange gabeekengera.

(C)“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
    Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
    noolwekyo toobakkirize kuwangula.
(D)Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
    alireetera amaaso g’abaana be okuziba.

(E)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
    anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
(F)Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
    omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
(G)Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
    atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
(H)Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
    n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.

10 (I)“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
    naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 (J)Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
    era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
    mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 (K)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
    bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (L)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
    era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (M)kale essuubi lyange liba ludda wa?
    Ani ayinza okuliraba?
16 (N)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
    Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”

Birudaadi Ayanukula

18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,

“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
    Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
(O)Lwaki tutwalibwa ng’ente
    era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
(P)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
    abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

(Q)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
    era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
Ekitangaala kivudde mu weema ye;
    n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
(R)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
    era enkwe ze, ze zimusuula.
(S)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
    era n’atangatanga mu butimba.
Omutego gumukwata ekisinziiro;
    akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
    akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (T)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
    era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (U)Emitawaana gimwesunga;
    ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (V)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
    omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (W)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
    era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (X)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
    ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (Y)Emirandira gye gikala wansi,
    n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (Z)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
    talina linnya mu nsi.
18 (AA)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
    n’aggyibwa mu nsi.
19 (AB)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
    newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (AC)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
    n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (AD)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
    bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”

Yobu Amuddamu

19 Awo Yobu n’addamu nti:

“Mulikomya ddi okunnyigiriza
    ne mummenya n’ebigambo?
Emirundi kkumi nga munvuma;
    temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
(AE)Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
    obukyamu bwange, bwange nzekka.
(AF)Bwe muba munneegulumiririzaako
    ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
(AG)mumanye nga Katonda ankoze bubi
    era anzingizza mu kitimba kye.

(AH)“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
    ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
(AI)Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
    amakubo gange agalese mu kizikiza.
(AJ)Anziggyeeko ekitiibwa kyange
    n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 (AK)Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
    asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 (AL)Obusungu bwe bumbubuukirako;
    ambala ng’omu ku balabe be.
12 (AM)Amaggye ge galumba n’amaanyi;
    ganzimbako enkomera
    ne gagumba okwetooloola weema yange.

13 (AN)“Anziggyeeko baganda bange;
    abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
    mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
    ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira,
    wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
    nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 (AO)N’obulenzi obuto bunsekerera;
    buli lwe bundaba bunvuma.
19 (AP)Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
    abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 (AQ)Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
    nsigazzaawo bibuno byokka.

21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
    kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (AR)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
    Omubiri gwe mufunye tegumala?

23 (AS)“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
    Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
    oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 (AT)Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
    era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 (AU)Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
    kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 (AV)nze mwene ndimulaba,
    n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
    Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!

28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
    kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 (AW)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
    Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
    olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”

Ebikolwa by’Abatume 10:1-23

Koluneeriyo Atumya Peetero

10 (A)Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano. (B)Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo. (C)Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”

(D)Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”

Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira. (E)Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire. (F)Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”

Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza, (G)n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.

Peetero Alabikirwa

(H)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (I)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”

14 (J)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”

15 (K)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”

16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.

17 (L)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.

19 (M)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (N)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”

21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”

22 (O)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (P)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.