Old/New Testament
Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa
3 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. 2 N’agamba nti,
3 (A)“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4 Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
omusana guleme okulwakako,
Katonda aleme okulufaako.
5 (B)Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
ekire kirutuuleko,
ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6 (C)Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7 Yee, lubeere lugumba,
waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8 (D)Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9 (E)Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
lulindirire ekitangaala kirubulwe,
luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
nneme okulaba obuyinike.
11 (F)“Lwaki saafa nga nzalibwa,
oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 (G)Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
era n’amabeere okugayonka?
13 (H)Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 (I)wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 (J)oba n’abalangira abaalina zaabu,
abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 (K)Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
atalabye ku kitangaala?
17 (L)Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
era n’abakooye gye bawummulira.
18 (M)Abasibe gye bawummulira awamu,
gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera;
abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
20 (N)“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 (O)era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde,
ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 (P)Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
atayinza kulaba kkubo,
Katonda gw’akomedde?
24 (Q)Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 (R)Ekintu kye nantiiranga ddala
era kye nakyawa kye kyantukako.
26 (S)Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”
Erifaazi Ayogera
4 Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (T)“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3 (U)Laba, wayigiriza bangi,
emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4 (V)Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5 (W)Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6 (X)Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?
7 (Y)“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8 (Z)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
9 (AA)Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
bamalibwawo obusungu bwe.
10 (AB)Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 (AC)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
n’obwana bw’empologoma busaasaana.
12 (AD)“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
ne nkitegera okutu.
13 (AE)Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 (AF)okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera,
naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 (AG)‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 (AH)Obanga abaddu be tabeesiga,
nga bamalayika be abalanga ensobi
19 (AI)kale kiriba kitya,
abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 (AJ)Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 (AK)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
44 (A)“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 (B)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 (C)Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.
48 (D)“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,
49 (E)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 (F)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’
51 (G)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. 52 (H)Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53 (I)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
Suteefano Akubwa Amayinja
54 (J)Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji. 55 (K)Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 56 (L)N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. 58 (M)Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
59 (N)Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60 (O)N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.