Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 22-24

Okuyambagana

22 (A)Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo. Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza. Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.

(B)Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.

Omusajja Okwefaanaanyiriza Omukazi, oba Omukazi Okwefaanaanyiriza Omusajja

Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.

(C)Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.

(D)Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.

Akasenge ak’Okukugira Akasolya

Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu[a] akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.

Obutatabulatabulanga Bintu bya Njawulo

(E)Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.

10 (F)Ente n’endogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu eky’ekyuma kye munaabanga mulimisa.

11 (G)Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.

12 (H)Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ez’eminagiro gyammwe gye munaayambalanga.

Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi

13 (I)Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, 14 n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” 15 Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. 16 Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. 17 Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo. 18 (J)Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu. 19 Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi[b]; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.

20 Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, 21 (K)kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.

22 (L)Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.

23 Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 24 (M)munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.

25 Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga. 26 Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. 27 Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.

28 (N)Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo, 29 omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano.[c] Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.

30 (O)Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.

Abatakkirizibwenga mu Kuŋŋaaniro lya Mukama

23 “Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

(P)“Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. (Q)Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira. (R)Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo. (S)Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu.

(T)“Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri n’omu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

Obutali Bulongoofu mu Lusiisira

“Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe. 10 (U)Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru. 11 Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.

12 “Onootegekanga ekifo ebweru w’olusiisira ky’onoolagangamu okweteewuluza. 13 Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo. 14 (V)Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.

Amateeka Agatali Gamu

15 (W)“Omuddu omugule bw’anaabombanga n’ava ku mukama we mu nsi endala, n’ajja ne yeekweka gy’oli, tomuzzangayo wa mukama we. 16 (X)Omulekanga n’abeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo ky’aneerobozanga. Tomujooganga.

17 (Y)“Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri. 18 Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.

19 (Z)“Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. 20 (AA)Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.

21 (AB)“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. 22 Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. 23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.

24 “Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. 25 (AC)Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”

Amateeka g’Ebyobufumbo

24 (AD)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; (AE)bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.

Amateeka Agatali Gamu

(AF)Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.

(AG)Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.

(AH)Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde. (AI)Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.

10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 (AJ)Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

14 (AK)Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 (AL)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.

16 (AM)Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.

17 (AN)Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. 18 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

19 (AO)Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga. 20 (AP)Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu. 21 Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu. 22 (AQ)Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

Makko 14:1-26

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

(B)Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. (C)Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. (D)Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. (E)Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

10 (F)Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 (G)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (H)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

20 (I)N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 21 (J)Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

22 (K)Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”

23 (L)Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.

24 (M)N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 25 (N)Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 (O)Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.