Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 23-25

Okulagula kwa Balamu Okusooka

23 (A)Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” (B)Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

(C)Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.

(D)Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”

(E)Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”

(F)N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. (G)Balamu n’alagula nti,

“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
    kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
    jjangu oboole Isirayiri.’
(H)Nnyinza okukolimira
    abo Mukama Katonda batakolimidde?
Nnyinza okuboola
    abo Mukama Katonda baatabodde?
(I)Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi
    mbalengera nga nsinziira ku nsozi.
Ndaba abantu abeeyawuddeko
    abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 (J)Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
    oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?
Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,
    n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”

11 (K)Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”

12 (L)N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”

Okulagula kwa Balamu Okwokubiri

13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.” 14 (M)N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

15 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”

16 (N)Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”

17 N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”

18 Bw’atyo n’alagula nti,

“Golokoka, Balaki, owulirize;
    mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 (O)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
    oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
    Asuubiza n’atatuukiriza?
20 (P)Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa;
    agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.

21 (Q)“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo,
    tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri.
Mukama Katonda waabwe ali nabo;
    eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 (R)Katonda ye yabaggya mu Misiri,
    balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 (S)Tewali bulogo ku Yakobo,
    tewali bulaguzi ku Isirayiri.
Kiryogerwako ku Yakobo
    ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 (T)Abantu basituka ng’empologoma enkazi,
    beezuukusa ng’empologoma ensajja
etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo
    n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”

25 Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”

26 Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”

Okulagula kwa Balamu Okwokusatu

27 (U)Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.” 28 (V)Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.

29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.” 30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

24 (W)Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. (X)Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, n’alagula nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
(Y)okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
    alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:

“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
    ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!

(Z)“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
    ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
    ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
(AA)Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
    ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
    obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

(AB)“Katonda ye yabaggya mu Misiri
    balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
    ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
    ne babalasa n’obusaale bwabwe.
(AC)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
    ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?

“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
    n’oyo akukolimira akolimirwenga!”

10 (AD)Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 (AE)Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12 (AF)Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 (AG)‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 14 (AH)Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”

Okulagula kwa Balamu Okwokuna

15 N’alagula bw’ati nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
    aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.

17 (AI)“Mmulaba, naye si kaakano;
    mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
    omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
    obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (AJ)Edomu[a] aliwangulwa;
    Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
    naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 (AK)Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
    n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”

Okulagula kwa Balamu Okusembayo

20 (AL)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,

“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
    naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”

21 (AM)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:

“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
    ekisu kyo kiri mu lwazi
22 (AN)naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
    Asuli bw’alibatwala mu busibe.”

23 Ate n’alagula nti,

“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24     (AO)Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi[b],
    naye nabyo birizikirira.”

25 (AP)Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.

Isirayiri Asinza Bakatonda Abalala mu Sitimu

25 (AQ)Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu, (AR)abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. (AS)Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.

(AT)Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”

(AU)Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”

Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe (AV)n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma. (AW)N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

10 Mukama n’agamba Musa nti, 11 (AX)“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo. 12 (AY)Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 (AZ)Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”

14 Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni. 15 (BA)N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.

16 Mukama n’agamba Musa nti, 17 (BB)“Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta, 18 (BC)kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”

Makko 7:14-37

Ebyonoona Omuntu

14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona. 16 (Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”

17 (A)Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera. 18 N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona? 19 (B)Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.

20 Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona. 21 Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, 22 (C)n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. 23 Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

24 (D)Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. 25 (E)Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. 26 Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.

27 Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

28 Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”

29 Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”

30 Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

31 (F)Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli). 32 (G)Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.

33 (H)Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. 34 (I)Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” 35 (J)Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!

36 (K)Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. 37 Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.