Add parallel Print Page Options

Okuyitako

12 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, (A)“Okuva leero omwezi[a] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (B)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (C)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (D)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (E)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (F)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[b], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:2 Ekiseera ekyo kiri wakati w’ekitundu ekisembayo eky’omwezi gwa Maaki n’ekitundu ekisooka eky’omwezi gwa Apuli.
  2. 12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda.

Embaga ey’Okuyitako

16 (A)Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. (B)Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. (C)Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. (D)Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.

Read full chapter

(A)Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe.

Read full chapter