Old/New Testament
Obubaka Obukwata ku Ddamasiko
17 (A)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
kifuuse matongo.
2 (B)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
nga tewali azikanga.
3 (C)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4 (D)“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;
era akoggere ddala.
5 (E)Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,
n’omukono gwe ne gukungula empeke;
weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano
mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6 (F)Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa
ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,
ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,
bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”
bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
7 (G)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8 (H)So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,
emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,
oba empagi za katonda wa Baasera
oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9 Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10 (I)Weerabidde Katonda Omulokozi wo,
so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa
n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 (J)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12 (K)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (L)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (M)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
Obunnabbi Obukwata ku Kuusi
18 (N)Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
eri emitala w’emigga gya Kuusi,[a]
2 (O)etuma ababaka ne bagendera mu maato
ag’ebitoogo ku nnyanja.
Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,
eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,
ensi eyawulwamu emigga.
3 (P)Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,
mmwe ababeera ku nsi,
bendera lweriwanikibwa ku nsozi,
muligiraba,
era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,
muliriwulira.
4 (Q)Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,
“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,
ng’olubugumu olutemagana mu musana,
ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 (R)Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,
okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,
aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,
n’amatabi agalanda aligasalira.
6 (S)Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu
n’ensolo ez’ensi.
Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,
n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 (T)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,
ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
eyawulwamu emigga,
ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
Obunnabbi Obukwata ku Misiri
19 (U)Obunnabbi obukwata ku Misiri:
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
2 (V)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
3 (W)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
4 (X)Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[b]
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
5 (Y)Omugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
6 (Z)N’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
7 (AA)Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8 (AB)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
9 (AC)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (AD)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (AE)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (AF)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 (AG)Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (AH)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 (AI)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (AJ)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 (AK)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (AL)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (AM)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (AN)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (AO)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 (AP)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (AQ)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
17 (A)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (B)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (C)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (D)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba bbaabwe
21 (E)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 (F)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (G)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 (H)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (I)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (J)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (K)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (L)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (M)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (N)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.