Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Amosi 7-9

Okwolesebwa ku by’Omusango

(A)Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. (B)Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”

(C)Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.

N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”

(D)Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. (E)Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”

(F)Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.

Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”

Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. (G)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.

(H)“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,
    n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.
    N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”

Amosi Ne Amaziya

10 (I)Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.” 11 Bw’ati Amosi bw’ayogera nti,

“ ‘Yerobowaamu alifa kitala,
    ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    bave mu nsi yaboobwe.’ ”

12 (J)Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi[a]. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo. 13 (K)Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”

14 (L)Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli. 15 (M)Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ” 16 (N)Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,

“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri,
    era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’ 

17 (O)Mukama kyava akuddamu nti,

“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga
    era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.
Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala
    naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.
Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”

Ekisero Ky’ebibala

Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde. (P)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.

(Q)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”

(R)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

(S)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
(T)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

(U)Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.

(V)“Ensi terikankana olw’ekyo,
    na buli abeeramu n’akungubaga?
Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira
    n’ekka ng’amazzi
    ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”

(W)Mukama Katonda agamba nti,

“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
    era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 (X)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

11 (Y)“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,
teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,
    naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 (Z)Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
    bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo
nga banoonya ekigambo kya Mukama,
    naye tebalikifuna.

13 (AA)“Mu biro ebyo,

“abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi
    balizirika olw’ennyonta.
14 (AB)Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya
    oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’
    oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’
    baligwa obutayimuka nate.”

Okuzikirira kwa Isirayiri

(AC)Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
    emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
    n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
(AD)Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
    omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
    ndibawanulayo.
(AE)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
    ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
    ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
(AF)Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
    era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
    ne batuukibwako bibi so si birungi.”

(AG)Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
    akwata ku nsi n’esaanuuka,
    abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
    ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
(AH)oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
    omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
    n’agayiwa wansi ku lukalu,
    Mukama lye linnya lye.

(AI)Mukama ayongera n’agamba nti,
    “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
    nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
    n’Abasuuli e Kiri?”

Essuubi lya Isirayiri

(AJ)“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
    gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
    okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
    ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
    bw’ayogera Mukama.
(AK)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
    ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
    mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
    era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 (AL)Aboonoonyi bonna mu bantu bange,
    balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
    ‘Akabi tekalitutuukako.’ ”

Isirayiri edda obuggya

11 (AM)“Mu biro ebyo ndizzaawo
    ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
    ne nzizaawo ebyali amatongo,
    ne biba nga bwe byabeeranga,
12 (AN)balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
    n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
    bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.

13 (AO)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“akungula lw’alisinga asiga,
    n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
    n’akulukuta okuva mu busozi.
14 (AP)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
    ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
    era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (AQ)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
    era tebaliggibwa nate
    mu nsi gye nabawa,”

bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

Okubikkulirwa 8

Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu

(A)Awo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.

(B)Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.

(C)Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. (D)Akaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. (E)Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.

Abafuuyi b’Amakondeere

(F)Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.

(G)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

(H)Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, (I)n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.

10 (J)Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 11 (K)Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

12 (L)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

13 (M)Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.