Old/New Testament
Omulokozi Atuzaaliddwa
9 (A)Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
2 (B)Abantu abaatambuliranga mu kizikiza
balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
omusana gubaakidde.
3 Oyazizza eggwanga,
obongedde essanyu,
basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,
ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.[a]
4 (C)Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,
omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,
n’ekiti eky’oku kibegabega kye,
n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5 (D)Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6 (E)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7 (F)Okufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.
Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri
8 Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,[b]
ku birituuka ku Isirayiri.
9 (G)Era abantu bonna balibumanya,
Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya
aboogera n’amalala
n’omutima omukakanyavu,
10 nti, “Amatoffaali gagudde wansi
naye tulizimbya amayinja amateme,
emisukamooli gitemeddwawo
naye tulizzaawo emivule.”
11 (H)Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
alibakumaakuma bamulumbe.
12 (I)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.
Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
13 (J)Kubanga abantu tebakyuse kudda
wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 (K)Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,
ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 (L)Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 (M)Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 (N)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.
Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.
18 (O)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (P)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
tewali muntu alekawo muganda we.
20 (Q)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21 (R)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
ate bombi ne balya Yuda.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (S)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
2 (T)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
3 (U)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 (V)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli
5 (W)“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
era omuggo gw’ekiruyi kyange.
6 (X)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
7 (Y)Naye kino si kye kigendererwa kye,
kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
okumalirawo ddala amawanga mangi.
8 (Z)‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
9 (AA)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 (AB)Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”
12 (AC)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (AD)Kubanga yayogera nti,
“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (AE)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
15 (AF)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (AG)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
ogwokya ng’oluyiira.
17 (AH)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (AI)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
n’ennimiro ze, engimu,
ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (AJ)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
nga n’omwana ayinza okugibala.
Abalisigalawo ku Isirayiri
20 (AK)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[c]
eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (AL)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (AM)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
kubanga kusaanidde.
23 (AN)Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
24 (AO)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,
“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (AP)Kubanga mu kaseera katono nnyo
obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
26 (AQ)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
nga bwe yakola e Misiri.
27 (AR)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
olw’obugevvu bwo.
28 (AS)Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
liyise mu Migulooni,
era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 (AT)Bayise awavvuunukirwa, e Geba
ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
Gibea wa Sawulo adduse.
30 (AU)Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
Ggwe Layisa wuliriza!
Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 (AV)Olwa leero bajja kusibira Nobu,
balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
akasozi ka Yerusaalemi.
33 (AW)Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
Omulimu gwa Pawulo mu Baamawanga
3 (A)Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.
2 (B)Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba. 3 (C)Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga. 4 (D)Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo. 5 (E)Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi. 6 (F)Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
7 (G)Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge. 8 (H)Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika. 9 (I)Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. 10 (J)Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo. 11 Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. 12 (K)Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya. 13 Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.
Okwagala kwa Kristo
14 (L)Nfukaamirira Kitaffe, 15 ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu. 16 (M)Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, 17 (N)Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, 18 (O)mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. 19 (P)Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.
20 (Q)Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, 21 (R)agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.