Old/New Testament
Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu
5 (A)Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
ku lusozi olugimu.
2 (B)Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
3 (C)“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,
munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
4 (D)Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,
kye ssaagikolera?
Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,
lwaki saalabamu mirungi?
5 (E)Kaakano muleke mbabuulire
kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
6 (F)Era ndigireka n’ezika,
sirigirima wadde okugisalira.
Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
obutatonnyesaamu nkuba.
7 (G)Ennyumba ya Isirayiri
y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
8 (H)Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,
n’ennimiro ne muzongerako endala
ne wataba kafo konna kasigadde,
ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
9 (I)Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,
“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 (J)Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,
n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
11 (K)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (L)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 (M)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (N)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (O)Buli muntu alitoowazibwa,
abantu bonna balikkakkanyizibwa
era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (P)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (Q)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
18 (R)Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe
ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 (S)Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
zituuke nazo tuzimanye.”
20 (T)Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
n’ekirungi ekibi,
abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,
n’ekitangaala okuba ekizikiza,
abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera
n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
21 (U)Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,
era abagezigezi bo nga bwe balaba.
22 (V)Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
era mu kutabula ekitamiiza,
23 (W)abejjeereza abatemu olw’enguzi
era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
24 (X)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 (Y)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.
Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
era omukono gwe gukyagoloddwa.
26 (Z)Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
balyanguwako okujja.[a]
27 (AA)Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 (AB)Obusaale bwabwe bwogi,
n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
29 (AC)Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,
balikaaba ng’empologoma ento:
weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe
bagutwalire ddala awatali adduukirira.
30 (AD)Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
aliraba ekizikiza n’ennaku;
n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
Katonda Atuma Isaaya
6 (AE)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. 2 (AF)Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. 3 (AG)Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4 N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.
5 (AH)Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”
6 Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto[b] ne nnamagalo. 7 (AI)Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
8 (AJ)Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”
Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
9 (AK)Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,
“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 (AL)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
oggale amatu gaabwe,
n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
oba okuwulira n’amatu gaabwe
oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”
11 (AM)Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”
Nanziramu nti,
“Okutuusa ebibuga lwe birizika
nga tewali abibeeramu,
ne mu mayumba nga temuli muntu,
ensi ng’esigalidde awo,
12 (AN)okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,
era ng’ensi esigadde matongo.
13 (AO)N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,
nakyo kirizikirizibwa.
Naye ng’omumyuliru n’omuvule
bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,
bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”
1 (A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.
2 (B)Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
Emikisa mu Kristo
3 (C)Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. 4 (D)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. 5 (E)Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. 6 (F)Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo. 7 (G)Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli, 8 kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna. 9 (H)Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo. 10 (I)Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.
11 (J)Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe; 12 (K)ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo. 13 (L)Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, 14 (M)gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
Okusaba kwa Pawulo
15 (N)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 (O)sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 (P)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 (Q)Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 (R)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 (S)amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 (T)Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 (U)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.