Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 39-40

Yusufu ne Muka Potifali

39 (A)Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.

(B)Mukama n’aba ne Yusufu n’aba n’omukisa ng’ali mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. (C)Ne mukama we n’alaba nga Mukama amuwadde omukisa mu buli ky’akola. (D)Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina. (E)Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro. (F)Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga.[a]

Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu. (G)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.” (H)Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange, (I)era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?” 10 Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.

11 Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba, 12 (J)muka mukama we n’akwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’agamba nti, “Weegatte nange.” Yusufu n’amwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo z’omukazi wa mukama we. Ye n’adduka n’ava mu nnyumba.

13 Naye omukazi bwe yalaba ng’asigazza ekyambalo kya Yusufu, 14 (K)n’ayita abasajja ab’omu nnyumba ye n’abagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange, 15 bw’awulidde nga ndeekaana n’adduka n’ava mu nnyumba.”

16 Awo kwe kutereka ekyambalo okutuusa mukama wa Yusufu lwe yadda eka. 17 (L)Omukyala n’abuulira bba byonna ng’agamba nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingidde gye ndi okunjooga. 18 Naye nabadde nakaleekaana, n’aleka ekyambalo kye gye ndi, n’adduka n’ava mu nnyumba.”

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

19 (M)Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka. 20 (N)Mukama wa Yusufu n’akwata Yusufu n’amuteeka mu kkomera omwasibirwanga abazzizza emisango eri kabaka.

21 (O)Naye Mukama n’abeera ne Yusufu, n’amulaga okwagala kwe okutalojjeka. N’aganja nnyo mu maaso g’omukuumi w’ekkomera. 22 (P)Omukuumi w’ekkomera n’ateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu y’akirinako obuvunaanyizibwa. 23 (Q)Omukuumi w’ekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama n’amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.

Yusufu Annyonnyola Ebirooto

40 (R)Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. (S)Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, (T)n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. (U)Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.

(V)Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. (W)N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”

(X)Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”

Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10 Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11 Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”

12 (Y)Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13 mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we. 14 (Z)Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera. 15 (AA)Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”

Ekirooto ky’Omukulu wa Bafumbi

16 Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu. 17 Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”

18 (AB)Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 19 (AC)bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.” 20 (AD)Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi. 21 (AE)Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo, 22 (AF)kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.

23 (AG)Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.

Matayo 11

Yesu ne Yokaana Omubatiza

11 (A)Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe.

(B)Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. (C)Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?”

Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. (D)Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. (E)Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’ ”

(F)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. (G)Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 10 (H)Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti,

“ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere,
    alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’

11 Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana. 12 Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala. 13 Kubanga amateeka gonna era n’obunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana. 14 (I)Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja. 15 (J)Alina amatu agawulira, awulire.”

16 “Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,

17 “ ‘Twabafuuyira omulere,
    ne mutazina;
ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga,
    ne mutakungubaga.’

18 (K)Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 19 (L)Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”

20 Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 21 (M)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 22 (N)Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 23 (O)Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 24 (P)Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!”

Abakooye n’Abazitoowereddwa

25 (Q)Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. 26 Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.”

27 (R)“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”

28 (S)“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 29 (T)Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. 30 (U)Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.