Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 31-32

Yakobo Ateekateeka Okudda Ewaabwe

31 Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.” Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.

(A)Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.” Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo. (B)Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange. (C)Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna. (D)Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi. (E)Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’ (F)Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.

10 “Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo. 11 (G)Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 12 (H)N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. 13 (I)Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”

14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe. 15 (J)Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa. 16 Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”

Yakobo Adduka Okuva ku Labbaani

17 Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18 (K)n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.

19 (L)Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani. 20 (M)Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende. 21 (N)Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.

22 Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako, 23 Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi. 24 (O)Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”

25 Awo Labbaani n’atuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi ey’ensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi ey’ensozi eya Giriyaadi. 26 (P)Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage? 27 (Q)Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga. 28 (R)Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu. 29 (S)Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’ 30 (T)Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”

31 Yakobo n’addamu Labbaani nti, “Natya, kubanga n’alowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo. 32 (U)Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.

33 Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri. 34 (V)Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.

35 (W)Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be. 36 Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo? 37 (X)Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.

38 “Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo. 39 (Y)Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe ey’omu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze. 40 Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, n’okubeeranga mu mpewo ekiro, n’otulo ne tumbula. 41 (Z)Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi. 42 (AA)Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”

Endagaano wakati wa Yakobo ne Labbaani

43 Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero? 44 (AB)Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.” 45 (AC)Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi. 46 N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira[a] awo awali entuumo. 47 Labbaani entuumu n’agiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo n’agiyita Galeedi.

48 Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi, 49 (AD)n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne. 50 (AE)Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”

51 (AF)Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno n’empagi bye ntadde wakati wo nange. 52 (AG)Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi. 53 (AH)Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli,[b] Katonda wa kitaabwe atulamule.”

Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka. 54 Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.

55 (AI)Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.

Yakobo Yeeteekateeka Okusisinkana Esawu

32 (AJ)Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. (AK)Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu.

(AL)Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[c] mu nsi ya Edomu. N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, (AM)alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”

(AN)Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” (AO)Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”

(AP)Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 (AQ)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 (AR)Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 (AS)Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”

Ekirabo kya Yakobo eri Esawu

13 (AT)N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”

17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 (AU)N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 (AV)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.

Yakobo Amegganira e Penieri

22 (AW)Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23 N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 24 (AX)Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 25 (AY)Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 26 (AZ)Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27 Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”

28 (BA)Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

29 (BB)Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.

30 (BC)Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31 Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. 32 Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.

Matayo 9:18-38

18 (A)Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.” 19 Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 20 (B)omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21 Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”

22 (C)Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.

23 (D)Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 24 (E)n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25 Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 26 (F)Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

27 (G)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

29 (H)Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 30 (I)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 31 (J)Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

32 (K)Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 33 (L)Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

34 (M)Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!” 35 (N)Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna. 36 (O)Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo. 37 (P)N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. 38 Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.