Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 7-9

(A)Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. (B)Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi. Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”

(C)Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.

Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi. Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba. Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula, ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira. 10 Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.

11 (D)Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 12 (E)Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 14 Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato. 15 (F)Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. 16 Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.

17 (G)Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18 Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19 (H)Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. 20 Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. 21 (I)Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 22 (J)Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 23 (K)Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.

24 (L)Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Okukendeera kw’Amataba

(M)Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; (N)ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.

Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira. Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; 11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi. 12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.

13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde. 14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.

15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 (O)“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 (P)Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”

18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.

20 (Q)Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 21 (R)Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.

22 (S)“Ensi ng’ekyaliwo,
okusiga n’amakungula,
obunnyogovu n’ebbugumu,
ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti,
emisana n’ekiro,
tebiggwengawo.”

Endagaano ya Katonda ne Nuuwa

(T)Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. (U)Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.

(V)“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. (W)Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.

(X)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
    n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
    Katonda mwe yakolera omuntu.

(Y)Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”

Endagaano ne Nuuwa

Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali (Z)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (AA)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

12 (AB)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (AC)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (AD)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

17 (AE)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”

Batabani ba Nuuwa

18 (AF)Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 (AG)Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.

Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa

20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.

24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 (AH)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,
    abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

26 Era n’agamba nti,

Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
    Kanani abeere muddu we.”
27 Katonda yaza Yafeesi,
    abeere mu weema za Seemu,
    Kanani abeere muddu we.

28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.

Matayo 3

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

(A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
    muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

(D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

(E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Okubatizibwa kwa Yesu

13 (J)Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”

15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.

16 (K)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (L)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.