Old/New Testament
Okukungubagira Misiri
30 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,
“Zibasanze ku lunaku olwo”
3 (B)kubanga olunaku luli kumpi,
olunaku lwa Mukama luli kumpi,
olunaku olw’ebire
eri bannaggwanga.
4 (C)Ekitala kirirumba Misiri,
n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
obugagga bwe bulitwalibwa
n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
5 (D)Obuwesiyopya, ne Puuti[a], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
6 (E)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Abawagira Misiri baligwa,
n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.
Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene
baligwa n’ekitala,
bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (F)Balirekebwawo
wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
8 Olwo balimanya nga nze Mukama
bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
9 (G)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
10 (H)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri
nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 (I)Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 (J)Ndikaza emigga gya Kiyira,
ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.
Nze Mukama nkyogedde.
13 (K)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 (L)Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
ne Zowani ndikikumako omuliro
ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 (M)Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
baligwa n’ekitala,
n’ebibuga biriwambibwa.
18 (N)Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
bategeere nga nze Mukama.’ ”
20 (O)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 (P)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22 (Q)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 (R)Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 (S)Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 (T)Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”
Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni
31 (U)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,
“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
3 (V)Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
4 Amazzi gaaguliisanga,
n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
eri emiti gyonna egy’omu ttale.
5 (W)Kyegwava gukula ne guwanvuwa
okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
6 (X)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
7 Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
gyasima awali amazzi amangi.
8 (Y)Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
ogugwenkana mu bulungi.
9 (Z)Nagulungiya n’amatabi amangi,
emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
ne gigukwatirwa obuggya.
10 (AA)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 (AB)kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 (AC)Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 (AD)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 (AE)Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 (AF)Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 (AG)Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.
18 (AH)“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.
“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Okukungubagira Falaawo
32 (AI)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (AJ)“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:
“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
era ng’otabangula amazzi,
n’osiikuula n’emigga.
3 (AK)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
4 (AL)Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,
era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,
n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya
ne zikkusibwa.
5 (AM)Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,
era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
6 (AN)Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo
okutuukira ddala ku nsozi,
era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
7 (AO)Bwe ndikusaanyaawo,
ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
okubaako ekizikiza;
8 Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;
era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
9 Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi,
bwe ndikuzikiriza mu mawanga,
ne mu nsi z’otomanyangako.
10 (AP)Amawanga mangi galijjula entiisa
era bakabaka baabwe balisasamala,
ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe.
Ku lunaku olw’okugwa kwo,
buli omu ku bo alikankana,
era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.
11 (AQ)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni
kirikutabaala.
12 (AR)Nditta enkuyanja y’abantu bo
n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira,
abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna.
Balimalawo amalala ga Misiri,
n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.
13 (AS)Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente
okuva awali amazzi amangi,
era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula
newaakubadde ente okulinnyirirayo.
14 N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge,
n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta,
bw’ayogera Mukama Katonda.
15 (AT)Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri,
ne ngiggyamu buli kantu akalimu,
ne nzita bonna ababeeramu,
balimanya nga nze Mukama.’
16 (AU)“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (AV)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (AW)“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. 19 (AX)Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ 20 (AY)Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. 21 (AZ)Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’
22 “Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. 23 (BA)Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.
24 (BB)“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. 25 Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.
26 (BC)“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. 27 Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.
28 “Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.
29 (BD)“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.
30 (BE)“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.
31 (BF)“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. 32 Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Obulamu Obuggya
4 Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. 2 (A)Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. 3 (B)Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. 4 (C)Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. 5 (D)Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. 6 (E)Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.
Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa
7 (F)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. 8 (G)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. 9 (H)Musembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 (I)Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 (J)Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo
12 (K)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (L)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (M)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (N)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (O)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?
18 (P)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”
19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.