Add parallel Print Page Options

(A)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
    era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
    abantu be mmaliddewo ddala.
Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
    kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
    amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
    era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
(B)Embogo zirifiira wamu nazo,
    n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
    n’enfuufu erinnyikira amasavu.

(C)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
    omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[a]
    n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
    Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[b] obuggya omuliro.
10 (D)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
    n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
    era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (E)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
    Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
    n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (F)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
    n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (G)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
    n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
    era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (H)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
    n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
    nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (I)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
    ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
    Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.

Read full chapter

Footnotes

  1. 34:9 bulimbo kifaanana ng’ennoni
  2. 34:9 bulimbo kifaanana ng’ennoni

Obubaka obukwata ku Edomu

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?

Read full chapter

15 (A)Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Read full chapter

(A)Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.

Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.

Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,
    Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,
“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”

Read full chapter

Obunnabbi ku Edomu

12 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, 13 (B)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. 14 (C)Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter