Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Finding your way around? See how the new Bible Gateway works. Take the tour.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Verse of the Day by email. Sign up free.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Ezeekyeri 35  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Obunnabbi ku Edomu

35 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, 3 (A)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. 4 (B)Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’

5 (C)“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, 6 (D)nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. 7 Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. 8 (E)Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. 9 (F)Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.

10 (G)“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, 11 (H)era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. 12 (I)Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” 13 (J)Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. 14 (K)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. 15 (L)Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Cross references

  1. 35:3 : a Yer 6:12 b Ez 25:12-14
  2. 35:4 : nny 9
  3. 35:5 : Zab 137:7; Ez 21:29
  4. 35:6 : Is 63:2-6
  5. 35:8 : Ez 31:12
  6. 35:9 : Yer 49:13
  7. 35:10 : Zab 83:12; Ez 36:2, 5
  8. 35:11 : a Ez 25:14 b Zab 9:16; Mat 7:2
  9. 35:12 : Yer 50:7
  10. 35:13 : Dan 11:36
  11. 35:14 : Yer 51:48
  12. 35:15 : a Ob 12 b nny 3 c Is 34:5-6, 11; Yer 50:11-13; Kgb 4:21
Next
Ezeekyeri 34
Ezeekyeri 36
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway