Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 4

Musa Alagira Abantu Okuba Abawulize

(A)Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka n’ebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. (B)Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.

(C)Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza; naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu leero.

Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. (D)Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.” (E)Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda b’abantu baalyo okumpi n’abantu abo, nga ffe bwe tulina Mukama Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola? Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?

(F)“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. 10 (G)Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe. 11 (H)Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’ 12 (I)Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. 13 (J)Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga. 14 Era mu kaseera ako Mukama Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.

Okusinza Bakatonda abalala Kuwerebwa

15 (K)“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, 16 (L)mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi, 17 oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga, 18 oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka. 19 (M)Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu. 20 (N)Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.

21 (O)“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe. 22 (P)Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 23 (Q)Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola. 24 (R)Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.

Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala

25 (S)“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, 26 (T)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. 27 (U)Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. 28 (V)Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. 29 (W)Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. 30 (X)Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. 31 (Y)Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

Isirayiri, Eggwanga Eddonde

32 (Z)“Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako? 33 (AA)Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? 34 (AB)Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

35 (AC)“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. 36 (AD)Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo. 37 (AE)Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi. 38 (AF)Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.

39 (AG)“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala. 40 (AH)Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”

Ebibuga eby’Obuddukiro

41 Awo Musa n’ayawula ebibuga bisatu ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, 42 nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa. 43 Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye ky’Abalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye ky’Abagaadi; ne Golani mu Basani, nga ky’ekitundu ky’Abamanase abaagabana oluuyi olwo.

Musa Ayanjula Amateeka

44 Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isirayiri, 45 era ono ye kalonda w’obujulirwa, n’amateeka, n’ebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, 46 (AI)nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri. 47 Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. 48 (AJ)Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego y’Ekiwonvu Alunoni n’okutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni, 49 n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.

Zabbuli 86-87

Okusaba kwa Dawudi.

86 (A)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
    kubanga ndi mwavu atalina kintu.
(B)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
    Katonda wange, ondokole
    nze omuddu wo akwesiga.
(C)Onsaasire, Ayi Mukama,
    kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
(D)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
    kubanga omwoyo gwange
    nguyimusa eyo gy’oli.

(E)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
    owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
(F)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
    kubanga ononnyanukulanga.

(G)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
(H)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
    ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
    era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (I)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
    ggwe wekka ggwe Katonda.

11 (J)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
    ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
    ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
    erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
    wawonya omwoyo gwange amagombe.

14 (K)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
    ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
    be bantu abatakufiirako ddala.
15 (L)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (M)Onkyukire, onsaasire,
    ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
    nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
    abalabe bange bakalabe baswale;
    kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (N)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(O)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(P)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(Q)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(R)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Isaaya 32

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

32 (A)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
    n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
(B)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
    ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
    ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

(C)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
    n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
(D)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
    n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
(E)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
    newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
(F)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
    n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
    era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
    n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
(G)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
(H)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
    era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
(I)Mmwe abakazi abateefiirayo,
    mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
    muwulire bye ŋŋamba.
10 (J)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
    mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
    n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (K)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
    mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
    mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (L)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
    olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (M)n’olw’ensi ey’abantu bange,
    ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
    na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (N)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
    ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
    ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (O)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
    n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
    n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (P)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
    n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (Q)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
    mu maka amateefu
    mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (R)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
    n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (S)ggwe oliraba omukisa,
    ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
    n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.

Okubikkulirwa 2

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso

(A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.

(B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.

(D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.

(G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna

(H)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, (I)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (J)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.

11 (K)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo

12 (L)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (M)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.

14 (N)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (O)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (P)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.

17 (Q)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira

18 (R)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 (S)nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.

20 (T)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 (U)Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 (V)Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 (W)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.

24 (X)Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 (Y)Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.

26 (Z)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 (AA)‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 (AB)Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 (AC)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.