Add parallel Print Page Options

29 (A)Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”

Read full chapter

20 (A)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
    okutuusa ng’amaze okutuukiriza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.

Read full chapter

(A)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.

Read full chapter