Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 11

Abantu Beemulugunya

11 (A)Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. (B)Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. (C)Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.

Emmaanu

(D)Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! (E)Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”

(F)Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. (G)Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.

Musa Asaba Ennyama

10 Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 11 (H)Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 12 (I)Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 13 (J)Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 (K)Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 15 (L)Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”

Mukama Ayanukula Musa

16 Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 (M)Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.

18 (N)“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 (O)naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”

21 (P)Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 (Q)Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”

23 (R)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

24 Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. 25 (S)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”

28 (T)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”

29 (U)Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30 Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.

Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi

31 (V)Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 33 (W)Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 34 (X)Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.

35 (Y)Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.

Zabbuli 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(B)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(C)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(D)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(E)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(F)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(G)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(H)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (I)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (J)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (K)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (L)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Isaaya 1

(A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Eggwanga Ejjeemu

(B)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
    kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
    naye ne banjeemera.
(C)Ente emanya nannyini yo
    n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
    abantu bange tebantegeera.”

(D)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

(E)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.
(F)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
    temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
    n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
    wadde okuteekebwako eddagala.

(G)Ensi yammwe esigadde matongo,
    ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
    Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
    era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
(H)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
    ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
    ng’ekibuga ekizingiziddwa.
(I)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

10 (J)Muwulirize ekigambo kya Katonda
    mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
    mmwe abantu b’e Ggomola!
11 (K)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
    zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
    enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
    newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 (L)Bwe mujja mu maaso gange,
    ani aba abayise
    ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 (M)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
    obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
    zijjudde obutali butuukirivu.
14 (N)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
    emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
    nkooye okubigumiikiriza.
15 (O)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

16 (P)Munaabe, mwetukuze
    muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
    mulekeraawo okukola ebibi.
17 (Q)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

18 (R)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
    bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
    binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
    binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (S)Bwe munaagondanga ne muwulira,
    munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 (T)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
    ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

21 (U)Laba ekibuga ekyesigwa
    bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
    Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
    naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
    wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (V)Abafuzi bo bajeemu,
    mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
    era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
    so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 (W)Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
    ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
    era ne nesasuza abo abankyawa.
25 (X)Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
    ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
    ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 (Y)Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
    n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
    ekibuga eky’obutuukirivu,
    ekibuga ekyesigwa.”

27 (Z)Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
    n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 (AA)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
    n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

29 (AB)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
    mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
    ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
    era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 (AC)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
    n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
    so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”

Abaebbulaniya 9

Okusinza ku nsi ne mu ggulu

(A)Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. (B)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. (C)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. (D)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. (E)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.

(F)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. (G)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. (H)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. (I)Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 10 (J)Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.

Omusaayi gwa Kristo

11 (K)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (L)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (M)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (N)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

15 (O)Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

16 Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa. 17 Kubanga kikola ng’eyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bw’aba ng’akyali mulamu. 18 (P)Era n’endagaano ey’olubereberye teyakolebwa awatali musaayi. 19 (Q)Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu. 20 (R)N’ayogera nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira okukwata.” 21 Era bw’atyo n’amansira ne ku weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza. 22 (S)Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

23 (T)Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. 24 (U)Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. 25 (V)Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe, 26 (W)kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. 27 (X)Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, 28 (Y)era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.