Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 1

Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo

(A)Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. (B)Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.

Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”

(C)Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’

(D)“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’

“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’

“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’

10 (E)“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”

11 (F)Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13 (G)Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14 (H)Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 15 (I)Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16 (J)Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”

Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani

17 (K)Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 (L)n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

19 (M)“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!
    Ab’amaanyi nga bagudde!

20 (N)“Temukyogeranga mu Gaasi,[a]
    temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,[b]
abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
    abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.

21 (O)“Mmwe ensozi za Girubowa,
    muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,
    newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.
Kubanga eyo engabo[c] ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa
    n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 (P)Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega
    n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,
olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,
    n’amasavu g’ab’amaanyi.

23 (Q)“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,
    ne mu kufa tebaayawukana.
Baali bangu okusinga empungu,
    era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.

24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,
    mukaabire Sawulo,
eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,
    eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
    Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 (R)Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,
    kubanga wali mukwano gwange ddala.
Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,
    nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.

27 (S)“Ab’amaanyi nga bagudde,
    n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

1 Abakkolinso 12

Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu

12 (A)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. (B)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. (C)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

(D)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. (E)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.

(F)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. (G)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. (H)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (I)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (J)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.

Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi

12 (K)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (L)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (M)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (N)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.

21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

27 (O)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (P)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (Q)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (R)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Ezeekyeri 10

Ekitiibwa kya Mukama Kiva mu Yeekaalu

10 (A)Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. (B)Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.

Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. (C)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama. (D)N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.

Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. (E)Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu.

(F)Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. 10 Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. 11 Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. 12 (G)Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. 13 Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” 14 (H)Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

15 (I)Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. 16 Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. 17 (J)Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.

18 (K)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 19 (L)Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

20 (M)Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. 21 (N)Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. 22 Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.

Zabbuli 49

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(G)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.