Add parallel Print Page Options

(A)“ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.

Read full chapter

28 (A)Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n’ayogera nti, “Nze n’obwakabaka bwange tetulivunaanibwa ennaku zonna mu maaso ga Mukama olw’omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri. 29 (B)Omusaayi gwe gubeerenga ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba ya kitaawe, era mu nnyumba ya Yowaabu mulemenga okubulamu omuziku newaakubadde omugenge, newaakubadde omulema newaakubadde alifa n’ekitala, newaakubadde alibulwa emmere.”

Read full chapter

32 (A)Era Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi.

Read full chapter

24 (A)Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”

25 (B)Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”

Read full chapter

(A)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”

Read full chapter