M’Cheyne Bible Reading Plan
Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi
18 (A)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. 2 Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. 3 (B)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. 4 (C)Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.
5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.
Sawulo Akwatirwa Dawudi Obuggya
6 (D)Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli. 7 (E)Baazinanga ate nga bwe bayimba nti,
“Sawulo asse enkumi ze
Dawudi n’atta emitwalo gye.”
8 (F)Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?” 9 Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya.
10 (G)Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, 11 (H)n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.
12 (I)Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. 13 (J)Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. 14 (K)Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye. 15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. 16 (L)Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.
17 (M)Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” 18 (N)Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” 19 (O)Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.
20 (P)Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira. 21 (Q)Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”
22 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ” 23 Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” 24 Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi. 25 (R)Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.
26 Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo, 27 (S)Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase.
28 Naye Sawulo bwe yategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi, 29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.
30 (T)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.
Okulamusa
16 (A)Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa[a] ey’omu Kenkereya. 2 (B)Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
3 (C)Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, 4 abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.
5 (D)Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.
Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.
6 Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.
7 (E)Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.
8 Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.
9 (F)Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.
10 Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.
Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.
11 (G)Mundabire Kerodiyoni muganda wange.
Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.
12 Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.
Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.
13 Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.
14 Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.
15 (H)Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.
16 (I)Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.
Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.
Ebisembayo
17 (J)Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 (K)Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 (L)Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.
20 (M)Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.
21 (N)Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.
22 Nange Terutiyo[b] awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.
23 (O)Gaayo[c] ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.
24 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
Pawulo abasiibula n’okusaba
25 (P)Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26 kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 (Q)Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.
3 (A)Nze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
2 (B)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
3 (C)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
4 (D)Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
era amenye n’amagumba gange.
5 (E)Antaayizza n’anzijuza
obulumi n’okubonaabona.
6 (F)Antadde mu kizikiza
ng’abafu abaafa edda.
7 (G)Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
ansibye enjegere ezizitowa.
8 (H)Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
okusaba kwange akuggalira bweru.
9 (I)Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
era akyamizza amakubo gange.
10 Ng’eddubu bwe liteega,
n’empologoma bwe yeekweka
11 (J)yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 (K)Yanaanuula omutego gwe,
n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
13 (L)Yafumita omutima gwange
n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 (M)Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 (N)Anzijuzza ebikaawa
era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
16 (O)Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
anninnyiridde mu nfuufu.
17 Emmeeme yange terina mirembe,
n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 (P)Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
20 (Q)Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
22 (R)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (S)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (T)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
25 (U)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
26 (V)Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
mu buvubuka bwe.
28 (W)Atuulenga yekka mu kasirise
kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 (X)Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 (Y)Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
era amalibwe n’okuvumibwa.
31 (Z)Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
ebbanga lyonna.
32 (AA)Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 (AB)Tagenderera kuleeta bulumi
newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
34 Mukama akkiriziganya
n’okulinnyirira abasibe,
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 (AC)oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
37 (AD)Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
Mukama nga takiragidde?
38 (AE)Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 (AF)Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
40 (AG)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
41 (AH)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (AI)“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
43 (AJ)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
44 (AK)Weebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (AL)Otufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.
46 (AM)“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
47 (AN)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (AO)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
49 (AP)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
50 (AQ)okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
52 (AR)Abalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (AS)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
54 (AT)amazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.
55 (AU)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (AV)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
57 (AW)Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
58 (AX)Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
59 (AY)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (AZ)Walaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (BA)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.