M’Cheyne Bible Reading Plan
Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo
33 (A)Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. 2 (B)Yagamba nti,
“Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
3 (C)Mazima gw’oyagala abantu,
abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.
Bavuunama wansi ku bigere byo
ne bawulira ebiragiro by’obawa.
4 (D)Ge mateeka Musa ge yatuwa
ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
5 Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
6 “Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo
n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
7 (E)Kino kye yayogera ku Yuda:
“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;
omuleete eri abantu be.
Yeerwaneko n’emikono gye.
Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
8 (F)Bino bye yayogera ku Leevi:
“Sumimu wo ne Ulimu wo
biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.
Wamukebera e Masa
n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
9 (G)Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,
‘Abo sibafaako.’
Baganda be teyabategeeranga
wadde okusembeza abaana be;
baalabiriranga ekigambo kyo
ne bakuumanga endagaano yo.
10 (H)Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo
ne Isirayiri amateeka go.
Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,
n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
11 (I)Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,
era okkirize emirimu gy’emikono gye.
Okubirenga ddala abo abamugolokokerako
okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
12 (J)Bye yayogera ku Benyamini:
“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,
Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,
omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
13 (K)Yayogera bw’ati ku Yusufu:
“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,
n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu
n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,
n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
15 (L)n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,
n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
16 (M)n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,
n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.
Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,
mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
17 (N)Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
nga ze nkumi za Manase.”
18 (O)Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:
“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;
ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
19 (P)Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi
ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,
banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,
nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
20 (Q)Yayogera bw’ati ku Gaadi:
“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,
Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma
ng’ayuza omukono n’omutwe.
21 (R)Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,
omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.
Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
ye yabasalira emisango gya Mukama,
n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
22 (S)Yayogera bw’ati ku Ddaani:
“Ddaani mwana gwa mpologoma,
ogubuuka nga guva mu Basani.”
23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali:
“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda
era ng’ojjudde emikisa gye,
onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
24 (T)Yayogera bw’ati ku Aseri:
“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,
ku baganda be gwe babanga basinga okwagala
era emizabbibu[a] gigimuke nnyo mu ttaka lye.
25 (U)Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo
n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
26 (V)“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
ne ku bire mu kitiibwa kye.
27 (W)Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
28 (X)Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,
ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,
mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,
eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
29 (Y)Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
Ani akufaanana,
ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
era onoobalinnyiriranga.”
Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu
34 (Z)Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, 2 (AA)ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, 3 (AB)ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. 4 (AC)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”
5 (AD)Awo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. 6 (AE)Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. 7 (AF)Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. 8 (AG)Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.
9 (AH)Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
10 (AI)Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. 11 Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, 12 era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.
ק Koofu
145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
ר Leesi
153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
n’amateeka go ga lubeerera.
ש Sini ne Sikini
161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
ת Taawu
169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
Onoonye omuddu wo,
kubanga seerabidde mateeka go.
Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja
60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 (B)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 (C)Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 (D)“Yimusa amaaso go olabe;
abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 (E)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
okulangirira ettendo lya Katonda.
7 (F)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
8 (G)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 (H)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri,
kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 (I)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (J)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 (K)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 (L)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (M)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
15 (N)“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,
nga tewali n’omu akuyitamu,
ndikufuula ow’ettendo,
essanyu ery’emirembe gyonna.
16 (O)Olinywa amata ag’amawanga.
Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,
mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,
mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.
Emirembe gye girifuuka omufuzi wo
n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 (P)Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,
wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.
Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,
Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 (Q)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (R)Enjuba yo terigwa nate,
n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 (S)Abantu bo babeere batuukirivu,
ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
omulimu gw’emikono gyange,
olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,
n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.
Nze Mukama,
ndikyanguya mu biseera byakyo.”
Yesu Awonya Omugenge
8 Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera. 2 (A)Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”
3 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge. 4 (B)Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi
5 Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, 6 ng’agamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”
7 Yesu n’amuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”
8 (C)Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! 9 Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
10 (D)Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 (E)Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 12 (F)Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji.”
13 (G)Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.
Yesu Awonya Nnyina wa muka Peetero
14 Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda. 15 Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.
16 (H)Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde. 17 (I)Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:
“Yatuwonya endwadde zaffe,
era n’atwala obunafu bwaffe.”
Okugoberera Yesu
18 (J)Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala. 19 Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”
20 (K)Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
21 Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 22 (L)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”
23 Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. 24 Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. 25 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”
26 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. 27 Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?” 28 (N)Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29 (O)Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”
30 Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi[a] nga zirya, 31 baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi.”
32 Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. 33 Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni. 34 (P)Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.