M’Cheyne Bible Reading Plan
Amateeka ku Bibuga eby’Okuddukirangamu
19 (A)Mukama Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo, 2 weeyawulirangako ebibuga bisatu[a] nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya. 3 Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.
4 Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. 5 Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.
6 (B)Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. 7 Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. 8 Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, 9 (C)kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. 10 (D)Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.
11 (E)Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13 (F)Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.
Ensalo z’Obwannannyini
14 (G)Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
Etteeka ku Bajulizi
15 (H)Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa. 16 (I)Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya, 17 (J)abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga Mukama Katonda awali bakabona n’abalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo. 18 Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo n’obwegendereza. Omujulizi oyo bw’anaakakasibwanga nga mulimba, ng’obujulizi bw’awadde ku munne bugingirire, 19 (K)munaamukolangako nga naye bw’abadde ayagala munne akolweko. Bw’atyo n’omalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe. 20 (L)Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo. 21 (M)Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono n’ekigere olw’ekigere.
106 (A)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 (B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 (C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.
4 (D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5 (E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.
6 (F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 (G)Bakadde baffe
tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 (H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 (I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
ne bayimba nga bamutendereza.
13 (M)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (N)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (O)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
16 (P)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (Q)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (R)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (S)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (T)Ekitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (U)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (V)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (W)N’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
24 (X)Baanyooma eby’ensi ennungi,
kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (Y)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (Z)Kyeyava yeerayirira
nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (AA)era nga n’abaana baabwe
balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28 (AB)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (AC)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
kawumpuli n’agenda.
31 (AD)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
emirembe gyonna.
32 (AE)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33 (AF)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
34 (AG)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (AH)naye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36 (AI)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37 (AJ)Baawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (AK)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (AL)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 (AM)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 (AN)N’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (AO)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 (AP)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 (AQ)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (AR)N’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 (AS)Ayi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 (AT)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”
Mumutendereze Mukama.
Bakatonda b’e Babulooni
46 (A)Beri avunnama,
Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 (B)Bikutamye byonna bivuunamye.
Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 (C)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 (D)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 (E)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 (F)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
ne bagwa wansi ne basinza.
7 (G)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 (H)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 (I)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (J)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
Omusajja[a] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (K)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (L)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
tebuli wala.
N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
Ebibya Omusanvu ebirimu Obusungu bwa Katonda
16 (A)Awo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.” 2 (B)Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.
3 (C)Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.
4 (D)Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi. 5 (E)Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti,
“Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu,
aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.
6 (F)Olw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi,
ogwo gwe musaayi gw’obawadde okunywa.”
7 (G)Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti,
“Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna,
ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
8 (H)Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu. 9 (I)Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.
10 (J)Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, 11 (K)ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.
12 (L)Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe. 13 (M)Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 14 (N)Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
15 (O)“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”
16 (P)Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.
17 (Q)Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” 18 (R)Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi. 19 (S)Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda. 20 (T)Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. 21 (U)N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.