The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.
Obunnabbi Obukwata ku Misiri
19 (A)Obunnabbi obukwata ku Misiri:
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
2 (B)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
3 (C)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
4 (D)Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[a]
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
5 (E)Omugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
6 (F)N’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
7 (G)Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
8 (H)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
9 (I)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (J)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (K)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (L)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 (M)Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (N)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 (O)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (P)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 (Q)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (R)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (S)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (T)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (U)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 (V)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (W)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi
20 (X)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; 2 (Y)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3 (Z)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 4 (AA)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 5 (AB)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 6 (AC)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
Obunnabbi Obukwata ku Babulooni
21 (AD)Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:
Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
eririraanye ensi etiisa.
2 (AE)Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.
3 (AF)Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
bye ndaba bimazeemu amaanyi.
4 Omutima gwange gutya,
Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
kanfukidde ekikankano.
5 (AG)Bateekateeka olujjuliro,
bayalirira ebiwempe,
ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
musiige engabo amafuta.
6 Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,
“Genda ofune omukuumi
akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
7 (AH)Bw’alaba amagaali
n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
era yeegendereze.”
8 (AI)Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,
“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
9 (AJ)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”
10 (AK)Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.
Obunnabbi obukwata ku Edomu
11 (AL)Obunnabbi obukwata ku Duuma:
Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
“Omukuumi, bunaakya ddi?
Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
“Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
okomewo nate.”
Obunnabbi obukwata ku Buwalabu
13 (AM)Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:
Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14 (AN)muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 (AO)Badduka ekitala,
badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
badduka n’akabi k’entalo.
16 (AP)Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 (AQ)Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.
Pawulo Ayanirizibwa Abatume
2 (A)Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi. 2 (B)Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu. 3 (C)Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga. 4 (D)Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, 5 (E)abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6 (F)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako, 7 (G)naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole, 8 (H)oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga. 9 (I)Yakobo ne Keefa[a] ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole. 10 (J)Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Pawulo Anenya Peetero
11 (K)Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. 12 (L)Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole. 13 (M)Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
14 (N)Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”
15 Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi. 16 (O)Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (F)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (G)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.