Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 3-4

Sulemaani Asaba Amagezi

(A)Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. (B)Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. (C)Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.

(D)Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. (E)Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”

(F)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. (G)Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. (H)Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. (I)Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”

10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 (J)Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 (K)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 13 (L)Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 14 (M)Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 15 (N)Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.

N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.

Sulemaani Asala Omusango Omuzibu

16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.

19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”

22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”

Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.

23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”

24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”

26 (O)Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”

27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”

28 (P)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.

Abakungu ba Sulemaani

Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.

(Q)Era bano be baali abakungu be:

Azaliya[a] muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,

(R)Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,

Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,

(S)Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,

Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,

Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,

Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,

Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;

ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.

Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.

(T)Era gano ge mannya gaabwe:

Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;

(U)Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;

10 (V)Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;

11 (W)Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;

12 (X)Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;

13 (Y)Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;

14 (Z)Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;

15 (AA)Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,

16 (AB)Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;

17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;

18 (AC)Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;

19 (AD)Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.

20 (AE)Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 (AF)Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe[b].

22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 (AG)Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa[c] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 25 (AH)Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.

26 (AI)Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.

27 (AJ)Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.

Amagezi ga Sulemaani

29 (AK)Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 (AL)Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba[d], ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 (AM)Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 (AN)Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 (AO)Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.

2 Ebyomumirembe 1

Sulemaani Asaba Amagezi

(A)Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo.

(B)Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe. (C)Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu. (D)Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema. (E)Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama. Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.

(F)Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.”

(G)Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we. (H)Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo. 10 (I)Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”

11 (J)Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe, 12 (K)amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”

13 Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri.

14 (L)Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga. 15 (M)Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi. 16 Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo. 17 (N)Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.

Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.