Chronological
Yesu Agumya Abayigirizwa be
14 (A)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 2 (B)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 3 (C)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe
5 (D)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 (E)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (F)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (G)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (H)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (I)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (J)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (K)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
15 (L)“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 (M)nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 17 (N)Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe. 18 (O)Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli. 19 (P)Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu. 20 (Q)Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe. 21 (R)Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22 (S)Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?” 23 (T)Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. 24 (U)Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma. 25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 (V)Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 27 (W)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
28 (X)“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa. 29 (Y)Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize. 30 (Z)Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza. 31 (AA)Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde.
“Musituke tuve wano.”
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (AB)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (AC)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (AD)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (AE)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (AF)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (AG)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (AH)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 (AI)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (AJ)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (AK)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 (AL)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (AM)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (AN)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (AO)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (AP)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (AQ)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 (AR)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (AS)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (AT)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (AU)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (AV)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (AW)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (AX)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
26 (AY)“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 (AZ)Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”
16 (BA)“Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala. 2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda. 3 Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi. 4 Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe. 5 (BB)Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ 6 Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7 (BC)Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. 8 Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, 9 (BD)kubanga tebanzikkiriza, 10 (BE)olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 (BF)n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
12 (BG)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (BH)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 (BI)Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga. 16 (BJ)Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 (BK)Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19 Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 (BL)Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 (BM)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 (BN)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 (BO)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 (BP)Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 (BQ)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (BR)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (BS)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (BT)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 (BU)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (BV)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 (BW)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”
Yesu Yeesabira
17 (BX)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti,
“Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize, 2 (BY)nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. 3 (BZ)Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4 (CA)Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. 5 (CB)Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”
Yesu Asabira Abayigirizwa be
6 (CC)“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo. 7 Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli, 8 (CD)kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9 (CE)Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. 10 (CF)Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa. 11 (CG)Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 12 (CH)Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
13 (CI)“Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14 (CJ)Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi. 15 (CK)Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi. 16 (CL)Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. 17 (CM)Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. 18 (CN)Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi. 19 Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”
Yesu Asabira Abakkiriza Bonna
20 “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe, 21 (CO)bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22 (CP)Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 23 (CQ)Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”
24 (CR)“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
25 (CS)“Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma. 26 (CT)Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.