Bible in 90 Days
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (A)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
46 (B)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 (C)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 (D)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 (E)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 (F)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 (G)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 (H)Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 (I)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 (J)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (K)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (L)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (M)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (N)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (O)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5 (P)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6 (Q)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
7 (R)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8 (S)Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9 (T)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (U)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (V)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (W)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (X)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (Y)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (Z)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (AA)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (AB)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (AC)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (AD)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (AE)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (AF)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
49 (AG)Muwulire mmwe amawanga gonna,
mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
2 Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
muwulirize ebigambo byange.
3 (AH)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
4 (AI)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
5 (AJ)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
6 (AK)abantu abeesiga obugagga bwabwe
beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
7 Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
wadde okwegula okuva eri Katonda.
8 (AL)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
tewali n’omu agusobola;
9 (AM)alyoke awangaale ennaku zonna
nga tatuuse magombe.
10 (AN)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (AO)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
alifa ng’ensolo bwe zifa.
13 (AP)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (AQ)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
obulungi bwabwe ne bubula,
amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (AR)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
tomutyanga,
17 (AS)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (AT)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (AU)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
n’ayingira mu kizikiza ekikutte.
20 (AV)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.
Zabbuli ya Asafu.
50 (AW)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 (AX)Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 (AY)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 (AZ)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 (BA)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 (BB)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
7 (BC)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8 (BD)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9 (BE)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (BF)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (BG)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
14 (BH)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (BI)Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
16 (BJ)Naye omubi Katonda amugamba nti,
“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
17 (BK)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (BL)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
19 (BM)Okolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (BN)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (BO)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.
22 (BP)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (BQ)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
era ateekateeka ekkubo
ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (BR)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (BS)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (BT)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (BU)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (BV)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (BW)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (BX)Onnaaze n’ezobu[b] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (BY)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (BZ)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (CA)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (CB)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (CC)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (CD)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (CE)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (CF)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (CG)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (CH)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
18 (CI)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (CJ)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
52 (CK)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 (CL)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 (CM)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 (CN)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
5 (CO)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 (CP)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 (CQ)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8 (CR)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
emirembe n’emirembe.
9 (CS)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (CT)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (CU)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (CV)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (CW)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”
54 (CX)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 (CY)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 (CZ)Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.
4 (DA)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
5 (DB)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.
6 (DC)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
kubanga ddungi.
7 (DD)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
55 (DE)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
togaya kwegayirira kwange.
2 (DF)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
3 (DG)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.
4 (DH)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
entiisa y’okufa entuukiridde.
5 (DI)Okutya n’okukankana binnumbye;
entiisa empitiridde.
6 Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
7 “Nandiraze wala nnyo,
ne mbeera eyo mu ddungu;
8 (DJ)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
9 (DK)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (DL)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
nandimwekwese.
13 (DM)Naye ggwe munnange,
bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (DN)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
15 (DO)Okufa kubatuukirire,
bakke emagombe nga bakyali balamu;
kubanga bajjudde okukola ebibi.
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
n’andokola.
17 (DP)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
ndaajana nga bwe nsinda;
n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
nga siriiko kintuseeko
newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (DQ)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
era abatatya Katonda.
20 (DR)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
n’amenya endagaano ye.
21 (DS)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22 (DT)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (DU)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
56 (DV)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
buli lunaku bannumba n’amaanyi.
2 (DW)Abalabe bange bannondoola,
bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3 (DX)Buli lwe ntya,
neesiga ggwe.
4 (DY)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5 (DZ)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
6 (EA)Beekobaana ne bateesa,
banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
nga bannindirira banzite.
7 (EB)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8 (EC)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
9 (ED)Bwe nkukoowoola,
abalabe bange nga badduka.
Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
Abantu bayinza kunkolako ki?
12 (EE)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (EF)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
mu musana nga ndi mulamu?
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.
57 (EG)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2 (EH)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 (EI)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4 (EJ)Mbeera wakati mu mpologoma,
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5 (EK)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 (EL)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
ate bo bennyini ne babugwamu.
7 (EM)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
omutima gwange munywevu.
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 (EN)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (EO)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11 (EP)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.
58 (EQ)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2 (ER)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3 Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4 (ES)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5 n’etawulira na luyimba lwa mukugu
agisendasenda okugikwata.
6 (ET)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7 (EU)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8 (EV)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9 (EW)Nga n’entamu tennabuguma,
alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (EX)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (EY)Awo abantu bonna balyogera nti,
“Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (EZ)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (FA)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (FB)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (FC)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (FD)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (FE)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (FF)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (FG)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (FH)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (FI)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (FJ)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (FK)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (FL)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (FM)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
60 (FN)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2 (FO)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3 (FP)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
5 (FQ)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6 (FR)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7 (FS)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8 (FT)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (FU)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
11 (FV)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (FW)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (FX)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (FY)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (FZ)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (GA)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (GB)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (GC)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (GD)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (GE)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (GF)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (GG)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (GH)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (GI)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (GJ)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (GK)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (GL)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (GM)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (GN)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (GO)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (GP)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (GQ)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (GR)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (GS)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (GT)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (GU)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (GV)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (GW)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (GX)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
64 (GY)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 (GZ)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 (HA)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 (HB)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 (HC)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 (HD)Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 (HE)Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 (HF)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.
Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
65 (HG)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 (HH)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 (HI)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
4 (HJ)Alina omukisa oyo gw’olonda
n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 (HK)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
abali ewala mu nnyanja zonna,
6 (HL)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 (HM)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 (HN)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
okuwa abantu emmere ey’empeke,
kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (HO)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (HP)Amalundiro gajjula ebisibo,
n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (HQ)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (HR)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (HS)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (HT)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (HU)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (HV)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (HW)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (HX)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (HY)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (HZ)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (IA)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (IB)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (IC)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (ID)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (IE)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (IF)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (IG)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (IH)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (II)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (IJ)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (IK)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
6 (IL)Ensi erireeta amakungula gaayo;
era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 (IM)Katonda anaatuwanga omukisa;
n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.
68 (IN)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
n’abo abamukyawa bamudduke.
2 (IO)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 (IP)Naye abatuukirivu basanyuke
bajagulize mu maaso ga Katonda,
nga bajjudde essanyu.
4 (IQ)Muyimbire Katonda,
muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 (IR)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 (IS)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
7 (IT)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
n’obayisa mu ddungu,
8 (IU)ensi yakankana,
eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 (IV)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (IW)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (IX)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
abantu ne bagabana omunyago.
13 (IY)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (IZ)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (JA)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (JB)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (JC)Bwe walinnyalinnya olusozi,
ng’abanyage bakugoberera;
abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (JD)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (JE)Katonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (JF)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (JG)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (JH)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”
24 (JI)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (JJ)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (JK)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (JL)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (JM)Bakabaka balikuleetera ebirabo
olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (JN)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (JO)Ababaka baliva e Misiri,
ne Kuusi aligondera Katonda.
32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
Mutendereze Mukama.
33 (JP)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (JQ)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
obuyinza bwe buli mu bire.
35 (JR)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.
Katonda atenderezebwe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.
69 (JS)Ondokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
2 (JT)Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
3 (JU)Ndajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
4 (JV)Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
5 (JW)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
6 Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 (JX)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (JY)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (JZ)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (KA)Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (KB)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (KC)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (KD)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (KE)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (KF)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
16 (KG)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (KH)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 (KI)Onsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.
19 (KJ)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (KK)Okusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (KL)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.