Bible in 90 Days
22 (A)Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
Lindirira Mukama alikuyamba.
23 (B)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
24 (C)Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
25 (D)Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
26 (E)Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
n’ababonereza awatali kusaasira.
27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
28 (F)Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
29 (G)Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
envi kye kitiibwa ky’abakadde.
30 (H)Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.
21 Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
era agukyusiza gy’ayagala yonna.
2 (I)Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
naye Mukama apima omutima.
3 (J)Okukola ebituufu n’eby’amazima
kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 (K)Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,
ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.
5 (L)Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,
naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
6 (M)Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,
mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.
7 Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,
kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
8 (N)Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu,
naye ery’abataliiko musango liba golokofu.
9 (O)Okusula ku kasolya k’ennyumba,
kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
10 Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
11 (P)Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
12 (Q)Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
13 (R)Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
naye alikoowoola nga talina amwanukula.
14 (S)Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
15 (T)Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
16 (U)Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
agukira mu bafu.
17 (V)Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo
ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
18 (W)Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi,
n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.
19 (X)Okubeera mu ddungu,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo,
naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
21 (Y)Agoberera obutuukirivu n’ekisa,
alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.
22 (Z)Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige,
era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.
23 (AA)Afuga akamwa ke n’olulimi lwe,
yeewoonya emitawaana.
24 (AB)“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga,
abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.
25 (AC)Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe,
kubanga emikono gye tegyagala kukola.
26 (AD)Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,
naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
27 (AE)Ssaddaaka y’omubi ya muzizo,
na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.
28 (AF)Omujulizi ow’obulimba alizikirira,
naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.
29 Omuntu omubi yeekazaakaza,
naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.
30 (AG)Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso
ebiyinza okulemesa Mukama.
31 (AH)Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,
naye obuwanguzi buva eri Mukama.
Omugaso gw’Erinnya Eddungi
22 (AI)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
2 (AJ)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
3 (AK)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
4 Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
5 (AL)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
6 (AM)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
7 Omugagga afuga abaavu,
naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
8 (AN)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
9 (AO)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
10 (AP)Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
11 (AQ)Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
13 (AR)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
14 (AS)Malaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.
15 (AT)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
17 (AU)Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
era ebikuwa okumanya?
21 (AV)Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
22 (AW)Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 (AX)Kubanga Mukama alibawolereza,
n’abo ababanyaga alibanyaga.
24 Tokwananga muntu wa busungu,
oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 (AY)oleme okuyiga amakubo ge
ne weesuula mu mitawaana.
26 (AZ)Teweegattanga ku abo abeeyama,
newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 (BA)Bw’oliba nga tolina kya kusasula
ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
28 (BB)Tojjululanga nsalo
bajjajjaabo gye bassaawo edda.
29 (BC)Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.
23 Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
weetegerezanga ebiri mu maaso go;
2 era weegendereze
bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
3 (BD)Tolulunkanira mmere ye ennungi,
kubanga erimbalimba.
4 Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
weefuge obeere mukkakkamu.
5 (BE)Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
6 (BF)Tolyanga mmere ya muntu mukodo,
wadde okwegomba ebirungi by’alya.
7 Kubanga ye muntu
abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
8 Akatono k’onooba olidde onookasesema,
ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.
9 (BG)Totegana kubuulirira musirusiru,
kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.
10 (BH)Tojjululanga nsalo ey’edda,
so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 (BI)kubanga abalwanirira w’amaanyi,
alikuggulako omusango.
12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.
13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.
15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
kinsanyusa.
16 (BJ)Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
bw’onooyogeranga ebituufu.
17 (BK)Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 (BL)Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.
19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 (BM)Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
n’abalulunkanira ennyama:
21 (BN)Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
22 (BO)Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 (BP)Gula amazima so togatunda,
ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 (BQ)Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26 (BR)Mwana wange mpa omutima gwo,
n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 (BS)kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 (BT)Ateega ng’omutemu,
n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 (BU)Abo abatava ku mwenge,
nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
bw’atemaganira mu ggiraasi
ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
neeyongere okunywa?”
24 (BV)Teweegombanga bakozi ba bibi
era tobeesemberezanga.
2 (BW)Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 (BX)Amagezi ge gazimba ennyumba,
n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 (BY)Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 (BZ)Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
aliyitibwa mukujjukujju.
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
abantu beetamwa omukudaazi.
10 (CA)Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
olwo ng’olina amaanyi matono!
11 (CB)Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 (CC)Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (CD)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
tonyaganga maka ge.
16 (CE)Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 (CF)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
n’amusunguwalira.
19 (CG)Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 (CH)Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 (CI)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
Ebigambo Eby’amagezi
23 (CJ)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 (CK)Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Eky’okuddamu eky’amazima,
kiri ng’okunywegerwa.
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 (CL)Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
so akamwa ko tekalimbanga.
29 (CM)Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 (CN)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (CO)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (CP)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Engero Endala Eza Sulemaani
25 (CQ)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
2 (CR)Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.
3 Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
4 Effeeza giggyeemu ebisejja,
olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
5 (CS)Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.
6 Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
7 (CT)Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.
8 (CU)Amaaso go bye galabye
tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
munno bw’anaakuswaza?
9 Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza;
n’onyoomebwa ebbanga lyonna.
11 (CV)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
12 (CW)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
13 (CX)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
aweweeza emmeeme ya bakama be.
14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
Muliraanwa n’Omulabe
15 (CY)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 (CZ)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 (DA)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Okwesiga omuntu ateesigika,
kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (DB)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
era Mukama alikuwa empeera.
23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
24 (DC)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
25 (DD)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
27 (DE)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
28 Omuntu ateefuga
ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.
Omusirusiru n’Obusirusiru bwe
26 (DF)Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula,
n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
2 (DG)Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka,
ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
3 (DH)Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi,
n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
4 (DI)Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
oleme kubeera nga ye.
5 (DJ)Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
6 (DK)Omuntu atuma omusirusiru,
aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.
7 (DL)Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi,
bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.
8 (DM)Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba,
n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.
9 (DN)Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu,
bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.
10 Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze,
bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.
11 (DO)Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo,
bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
12 (DP)Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye?
Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
13 (DQ)Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,
empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
14 (DR)Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
15 (DS)Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,
naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.
16 Omugayaavu alowooza nti mugezi,
okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
17 Ng’asika embwa amatu,
omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
18 Ng’omulalu akasuka
emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne,
n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
20 (DT)Enku bwe zibula omuliro guzikira,
awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
21 (DU)Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro,
bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
22 (DV)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
23 Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,
bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
24 (DW)Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye
naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 (DX)Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu
kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza,
naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
27 (DY)Buli asima ekinnya y’alikigwamu,
n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
28 (DZ)Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,
n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.
Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso
27 (EA)Teweenyumirizanga mu bya nkya,
kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2 (EB)Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
omuntu omulala so si mimwa gyo.
3 (EC)Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
4 (ED)Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
5 Okunenya mu lwatu,
kisinga okwagala okukisibbwa.
6 (EE)Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
7 Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,
naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
8 (EF)Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,
bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
9 (EG)Ebyakaloosa bisanyusa omutima,
n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
10 (EH)Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
11 (EI)Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
12 (EJ)Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
13 (EK)Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,
era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,
obanga amukolimidde.
15 (EL)Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,
ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba
ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.
18 (EM)Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,
n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,
bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
20 (EN)Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,
n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.
21 (EO)Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,
naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,
nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,
obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
23 (EP)Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 (EQ)Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
n’okuliisa abaweereza bo abawala.
28 (ER)Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.
2 Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,
naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.
3 Omufuzi anyigiriza abaavu,
afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.
4 Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,
naye abo abagakuuma babawakanya.
5 Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
6 (ES)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.
7 (ET)Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,
naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.
8 (EU)Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,
abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.
9 (EV)Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,
n’okusaba kwe tekukkirizibwa.
10 (EW)Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
aligwa mu katego ke ye,
naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
11 Omugagga alowooza nti mugezi,
naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.
12 (EX)Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.
13 (EY)Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.
14 Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,
naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.
15 Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,
bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.
16 Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,
naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.
17 (EZ)Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,
alibeera mu kutegana okutuusa okufa,
tewabanga n’omu amuyamba.
18 (FA)Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
19 (FB)Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.
20 (FC)Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.
21 (FD)Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,
naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.
22 (FE)Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,
naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.
23 (FF)Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,
okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.
24 (FG)Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,
n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.
25 (FH)Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,
naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.
26 (FI)Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,
naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.
27 (FJ)Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,
naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.
28 (FK)Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,
naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.
Obukulembeze bw’Abatuukirivu
29 (FL)Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi,
alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.
2 (FM)Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.
3 (FN)Ayagala amagezi asanyusa kitaawe,
naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.
4 (FO)Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu,
naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
5 Omuntu awaanawaana munne,
aba yeetega yekka ekitimba.
6 (FP)Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
7 (FQ)Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,
naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.
8 (FR)Abakudaazi basasamaza ekibuga,
naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.
9 Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru,
omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
10 (FS)Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima,
era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.
11 (FT)Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,
naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
12 Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,
abakungu be bonna bafuuka babi.
13 (FU)Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta:
Mukama bombi ye yabawa amaaso.
14 (FV)Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa,
obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
15 (FW)Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,
naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
16 (FX)Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera,
naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
17 (FY)Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,
alireetera emmeeme yo essanyu.
18 (FZ)Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza,
naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
19 Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka;
ne bw’aba ategedde tafaayo.
20 (GA)Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
21 Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto,
oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.
22 (GB)Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,
n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
23 (GC)Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24 (GD)Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye,
era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
25 (GE)Okutya omuntu kuleeta ekyambika,
naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26 (GF)Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.
27 (GG)Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu;
era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.
Ebigambo ba Aguli
30 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:
Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2 Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
sirina kutegeera kwa bantu.
3 (GH)Siyize magezi,
so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 (GI)Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
Mbulira obanga obimanyi.
5 (GJ)Buli kigambo kya Katonda kya mazima,
era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 (GK)Toyongeranga ku bigambo bye,
alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.
7 Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,
tobinnyimanga nga sinnafa:
8 (GL)Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 (GM)Nneme okukkutanga ne nkwegaana
ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10 Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,
alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
11 (GN)Waliwo abo abakolimira bakitaabwe
ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 (GO)abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,
ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 (GP)Waliwo abo ab’amalala amayitirivu,
abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 (GQ)n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,
n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,
okusaanyaawo abaavu mu nsi,
n’abo abali mu kwetaaga.
15 (GR)Ekinoso kirina bawala baakyo babiri
abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”
Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,
weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 (GS)Amagombe,
olubuto olugumba,
ettaka eritakutta mazzi,
n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17 (GT)Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
ne liriibwa ensega.
18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,
weewaawo bina bye sitegeera:
19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,
n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,
n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,
n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.
20 (GU)Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
alya n’asiimuula emimwa gye
n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu
weewaawo bina:
22 (GV)omuweereza bw’afuuka kabaka,
n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23 n’omukazi eyadibira mu ddya;
n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.
24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,
ebirina amagezi amangi ennyo.
25 (GW)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,
naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 (GX)obumyu busolo bunafu
naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 (GY)enzige tezirina kabaka,
kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28 omunya oyinza okugukwasa engalo,
naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,
weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31 sseggwanga,
n’embuzi ennume,
ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
32 (GZ)Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
weekomeko weekwate ku mumwa.
33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.
Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza
31 (HA)Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
2 (HB)Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
3 (HC)Tomaliranga maanyi go ku bakazi,[a]
newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
4 (HD)Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
si kya bakabaka okunywanga omwenge,
so si kya balangira okwegombanga omwenge,
5 (HE)si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
6 (HF)Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
7 (HG)Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
8 (HH)Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,
otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
9 (HI)Yogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Omukazi ow’Amagezi
10 (HJ)Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 (HK)Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
obulamu bwe bwonna.
13 (HL)Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15 Agolokoka tebunnakya,
n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;
asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 (HM)Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.[b]
23 (HN)Bba amanyibbwa,
y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
n’aguza abasuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
era tatya ebiro ebigenda okujja.
26 (HO)Ayogera n’amagezi,
era ayigiriza ebyekisa.
27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
era talya mmere ya bugayaavu.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
naye bonna ggwe obasinga.”
30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31 (HP)Mumusasule empeera gy’akoleredde,
n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
1 (HQ)Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
2 (HR)“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
Byonna butaliimu.
3 (HS)Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
4 (HT)Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
5 (HU)Enjuba evaayo era n’egwa,
ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
6 Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
7 (HV)Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
era gye gyeyongera okukulukutira.
8 (HW)Ebintu byonna bijjudde obukoowu
omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
wadde okutu okukoowa okuwulira.
9 (HX)Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
“Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
mu mirembe egyatusooka?
11 (HY)Tewali kujjukira bintu byasooka
era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu
12 (HZ)Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. 13 (IA)Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. 14 (IB)Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 (IC)Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,
n’ekibulako tekibalibwa.
16 (ID)Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” 17 (IE)Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
18 (IF)Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
Amasanyu Tegagasa
2 (IG)Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 2 (IH)Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 3 (II)Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.
4 (IJ)Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5 Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6 Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7 Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 8 (IK)Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 9 (IL)Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.
10 Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
11 (IM)Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.
Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu
12 (IN)Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
13 (IO)Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 (IP)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
nga bombi akabi kabatuukako.
15 (IQ)Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,
“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
nga butaliimu.
16 (IR)Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.
17 (IS)Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18 (IT)Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19 Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20 Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21 Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22 (IU)Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23 (IV)Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
24 (IW)Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25 kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26 (IX)Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.