Add parallel Print Page Options

20 (A)Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,
    n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.

Read full chapter

14 (A)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
    era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
    n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.

Read full chapter

(A)Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
    okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
    bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
    bonna abaali bakabaka baamawanga.

Read full chapter

11 (A)Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
    awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
    n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.

Read full chapter

Akabi eri Aboonoonyi

(A)Weewaawo, omwenge mulimba
    guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
    Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
    ne gugafuula abasibe.

Read full chapter