Add parallel Print Page Options

11 (A)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
    n’obwana bw’empologoma busaasaana.

Read full chapter

17 (A)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
    ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

Read full chapter

(A)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

Read full chapter

(A)Mbeera wakati mu mpologoma,
    nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
    Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

Read full chapter

(A)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
    omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.

Read full chapter

(A)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.

Read full chapter

(A)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

Read full chapter

(A)Beegomba ebyalo ne babitwala,
    ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
    ne bamubbako ebyobusika bwe.

Read full chapter

22 (A)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
    Omubiri gwe mufunye tegumala?

Read full chapter