Beginning
Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma
54 (A)“Yimba ggwe omugumba
atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”
bw’ayogera Mukama.
2 (B)“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
nyweza enkondo zo.
3 (C)Kubanga olisaasaanira
ku mukono gwo ogwa ddyo
era n’ogwa kkono,
n’ezzadde lyo lirirya amawanga,
era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 (D)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 (E)Kubanga Omutonzi wo ye balo,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,
Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 (F)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
bw’ayogera Katonda wo.
7 (G)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 (H)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
9 (I)“Kubanga gye ndi,
bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 (J)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
teriggyibwawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja
11 (K)Mukama agamba nti,
“Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 (L)N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 (M)Olinywezebwa mu butuukirivu
era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 (N)Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.
Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 Laba nze natonda omuweesi,
awujja amanda agaliko omuliro
n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.
Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 (O)Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,
era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.
Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,
n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
Abalumwa Ennyonta Bayitibwa
55 (P)“Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
2 (Q)Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
3 (R)Mumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
4 (S)Laba namufuula omujulirwa eri abantu,
omukulembeze era omugabe w’abantu.
5 (T)Laba oliyita amawanga g’otomanyi,
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
era Omutukuvu wa Isirayiri
kubanga akugulumizza.”
6 (U)Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
7 (V)Omubi aleke ekkubo lye,
n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
kubanga anaamusonyiyira ddala.
8 (W)“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe
era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”
bw’ayogera Mukama.
9 (X)“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
10 (Y)Era ng’enkuba bwetonnya
n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu
n’ebitaddayo,
wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,
ne bimerusa ensigo z’omusizi,
era ne biwa omuli emmere,
11 (Z)bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
12 (AA)Kubanga mulifuluma n’essanyu
ne mugenda mirembe,
ensozi n’obusozi nabyo
ne bitandika okuyimba nga bibalabye,
n’emiti gyonna
ne gitendereza n’essanyu.
13 (AB)Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya,
ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi.
Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe
era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo
ak’emirembe n’emirembe.”
Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna
56 (AC)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
bunatera okubikkulibwa.
2 (AD)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 (AE)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
“Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
“Ndi muti mukalu.”
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
5 (AF)amannya gaabwe galijjukirwa
mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
ery’emirembe n’emirembe.
6 (AG)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
7 (AH)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
8 (AI)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe
9 (AJ)Mukama agamba amawanga amalala okujja
ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 (AK)Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
ezaagala okwebaka obwebasi.
11 (AL)Embwa ezirina omululu omuyitirivu
ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 (AM)Bagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”
57 (AN)Abantu abatuukirivu bazikirira,
naye tewali akirowoozako n’akatono.
Abantu abeewaddeyo eri Katonda
batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.
Kubanga omutuukirivu aggyibwawo
olw’akabi akagenda okujja.
2 (AO)Ayingira mu mirembe
n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,
ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
3 (AP)“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu
ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4 Muzannyira ku ani?
Ani gwe mukongoola
ne mumusoomooza?
Temuli baana ba bujeemu,
ezzadde eryobulimba?
5 (AQ)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 (AR)Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu[a] gosinziza mu biwonvu,
abo be babo, obusika bwo;
abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa
era n’ebiweebwayo eby’empeke.
Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 (AS)Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 (AT)Emabega w’enzigi zammwe
we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 (AU)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
kumpi batuuke n’emagombe.
10 (AV)Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo
naye teweegamba nako nti,
‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’
Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11 (AW)“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,
n’olyoka olimba,
nze n’otonzijukira n’akatono
wadde okundowoozaako?
Olw’okubanga nsirise n’esikunyega
ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 (AX)Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,
naye tebigenda kukugasa.
13 (AY)Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,
leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;
naye empewo eribatwala,
omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.
Naye oyo anfuula ekiddukiro kye
alirya ensi
era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
Ekisa eri Abeenenya
14 (AZ)Era kiryogerwa nti,
“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!
Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 (BA)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
16 (BB)Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 (BC)Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 (BD)Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.
Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 (BE)Mirembe, era mirembe,
eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,
era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 (BF)Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 (BG)“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
Okusiiba okw’Amazima
58 (BH)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[b]
obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 (BI)Kubanga bannoonya buli lunaku
era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 (BJ)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 (BK)Njagala mulabe.
Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,
n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.
Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 (BL)Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?
Kukutamya bukutamya mutwe,
kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?
Okwo kwe muyita okusiiba,
olunaku olusiimibwa Mukama?
6 (BM)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
n’okumenya buli kikoligo?
7 (BN)Si kugabira bayala ku mmere yo,
n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 (BO)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 (BP)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.
“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (BQ)bw’olyewaayo okuyamba abayala
n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (BR)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (BS)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13 (BT)“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,
obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,
bw’onooluyitanga olw’essanyu
era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,
singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe
oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 (BU)awo olifuna essanyu eriva eri Mukama
era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu
era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”
Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.