Add parallel Print Page Options

12 (A)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.

Read full chapter

(A)Amawanga galijja eri omusana gwo
    ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

(B)“Yimusa amaaso go olabe;
    abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
    abasituliddwa mu mikono.
Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
    omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
    era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
(C)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
(D)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

(E)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
    ng’amayiba agadda mu bisu byago?
(F)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
    ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
    awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri,
    kubanga akufudde ow’ekitiibwa.

10 (G)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
    era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
    naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (H)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
    emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
    nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani

16 (A)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu.

Read full chapter