Beginning
Amagezi ge gali ku Ntikko
4 (A)Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 (B)yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 (C)Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 (D)Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 (E)Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 (F)Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 (G)Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu
10 (H)Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 (I)Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 (J)Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 (K)Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 (L)Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16 (M)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 (N)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (O)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 (P)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (Q)ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (R)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (S)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (T)Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (U)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Okulabula ku Bwenzi
5 (V)Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
2 olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
3 (W)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 (X)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 (Y)Ebigere bye bituuka mu kufa,
ebisinde bye biraga emagombe.
6 (Z)Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
7 (AA)Kaakano, batabani bange mumpulirize,
temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
8 (AB)Mwewalenga omukazi oyo
era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 (AC)Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Leka bibeere bibyo wekka,
bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 (AD)Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 (AE)Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
21 (AF)Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22 (AG)Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,
era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23 (AH)Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,
era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru
6 (AI)Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2 Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3 kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
weegayirire muliraanwa wo.
4 (AJ)Amaaso go togaganya kwebaka,
wadde ebikowe byo okubongoota.
5 (AK)Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
6 (AL)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7 Tebirina mukulembeze,
mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8 (AM)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9 (AN)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (AO)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (AP)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi
12 Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 (AQ)agenda atemyatemya ku liiso,
nga bw’akuba ebigere
ate nga bw’asongasonga olunwe,
14 (AR)olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 (AS)Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
Okulabula ku Bibi Omusanvu
16 Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,
weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17 (AT)Amaaso ag’amalala,
emimwa egirimba,
okuttira abantu obwereere;
18 (AU)omutima ogutegeka okukola ebibi,
ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19 (AV)obujulizi obw’obulimba,
n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
Okulabula Ku Bwenzi
20 (AW)Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 (AX)Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 (AY)Kubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24 (AZ)okukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 (BA)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29 (BB)Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
30 Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
olw’okwewonya enjala.
31 (BC)Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 (BD)Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 (BE)Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
n’obuswavu tebulimusangulibwako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.