Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 24-25

Ebikangabwa n’Omulembe Okuggwaako

24 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu, (A)naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”

(B)Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”

Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. (C)Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. (D)Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”

(E)“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange. 10 Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana. 11 (F)Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. 12 Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. 13 (G)Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. 14 (H)Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”

15 (I)“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 (J)Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 (K)Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 (L)Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 (M)Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 (N)Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 (O)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!”

26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 (P)Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 (Q)Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

29 (R)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
    ‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
    n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

30 (S)“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 (T)Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”

32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 33 (U)Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 34 (V)Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 (W)Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Olunaku n’Essaawa Tebimanyiddwa

36 (X)“Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka. 37 (Y)Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba. 38 (Z)Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato, 39 abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera. 40 (AA)Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa. 41 (AB)Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”

42 (AC)“Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi. 43 (AD)Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira. 44 (AE)Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

45 (AF)“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 (AG)Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 (AH)Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 (AI)n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 (AJ)alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

Olugero lw’Abawala Ekkumi

25 (AK)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. (AL)Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. (AM)Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.

“Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’

“Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. (AN)Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’

“Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’

10 (AO)“Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. 11 Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ 12 Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

13 (AP)“Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”

Olugero lw’Ettalanta

14 (AQ)“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. 15 (AR)Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira. 16 Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala. 17 N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri. 18 Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.

19 (AS)“Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. 20 Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’

21 (AT)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

22 “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’

23 (AU)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’

24 “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza. 25 Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’

26 “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira, 27 wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’

28 “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. 29 (AV)Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako. 30 (AW)N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

Endiga n’Embuzi

31 (AX)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 (AY)Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.

34 (AZ)“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 35 (BA)Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 36 (BB)nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’

40 (BC)“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

41 (BD)“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

45 (BE)“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

46 (BF)“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.