Add parallel Print Page Options

(A)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.”

Read full chapter

(A)“Balina omukisa abaavu mu mwoyo,
    kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.

Read full chapter

10 (A)Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,
    kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.”

Read full chapter

19 (A)Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu.

Read full chapter

14 (A)Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.”

Read full chapter

32 (A)“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa.

Read full chapter

50 (A)Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera.

Read full chapter

21 (A)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Read full chapter

(A)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?

Read full chapter

(A)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,

“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi.

Read full chapter

26 (A)kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo.

Read full chapter

(A)Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.

Read full chapter

(A)Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.

Read full chapter