Beginning
Olugero lw’Abalimi Ababi
12 (A)Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo. 2 Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’abatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro ey’emizabbibu. 3 Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika n’addayo ngalo nsa. 4 Nannyini nnimiro n’atuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. 5 Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba n’abalala ne babatta.
6 (B)“Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’
7 “Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ebyobusika tubyesigalize! 8 Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.
9 “Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala. 10 (C)Temusomangako byawandiikibwa nti,
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
11 (D)Ekyo Mukama ye yakikola
era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”
12 (E)Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.
Okuwa Kayisaali Omusolo
13 (F)Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14 Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”[a]
15 Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” 16 Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?”
Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”
17 (G)N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!”
Ne bamwewuunya nnyo.
Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira
18 (H)Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 19 (I)“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20 Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21 Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22 Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23 Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”
24 (J)Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 25 (K)Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 26 (L)Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27 Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”
Etteeka Ekkulu
28 (M)Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”
29 Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 30 (N)Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 31 (O)N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”
32 (P)Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. 33 (Q)Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”
34 (R)Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.
Kristo Mwana wa Ani
35 (S)Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 36 (T)Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe nditeeka abalabe bo
wansi w’ebigere byo.” ’
37 (U)Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”
Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.
38 Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 39 (V)Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40 Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”
Ekirabo kya Nnamwandu
41 (W)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[b] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[c]
43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (X)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
Obubonero obw’Enkomerero
13 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
2 (Y)Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
3 (Z)Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti, 4 “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
5 (AA)Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. 6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. 7 Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. 8 Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
9 (AB)“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. 10 Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 11 (AC)Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
12 (AD)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. 13 (AE)Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
14 (AF)“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. 15 N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye. 16 N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. 17 (AG)Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18 Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. 19 (AH)Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
20 “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako. 21 (AI)Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. 22 (AJ)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda. 23 (AK)Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,
“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
era n’omwezi teguliyaka,
25 (AL)era, emmunyeenye zirikunkumuka,
n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”
26 (AM)“Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 27 (AN)Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
Omutiini kye Guyigiriza
28 “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 29 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 30 (AO)Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo. 31 (AP)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera
32 (AQ)“Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe. 33 (AR)Mwekuume, mutunule[d] kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. 34 (AS)Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
35 “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, 36 si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. 37 (AT)Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.