Beginning
Obunnabbi eri Amoni
25 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. 3 (B)Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, 4 (C)kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. 5 (D)Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama. 6 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, 7 (F)kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”
Obunnabbi ku Mowaabu
8 (G)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,” 9 (H)kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo. 10 (I)Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga, 11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”
Obunnabbi ku Edomu
12 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, 13 (K)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. 14 (L)Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Obunnabbi ku Bafirisuuti
15 (M)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda, 16 (N)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza. 17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”
Obunnabbi ku Ttuulo
26 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (O)“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ 3 (P)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. 4 (Q)Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. 5 (R)Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, 6 era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.
7 (S)“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. 8 (T)Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. 9 Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 10 (U)Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 11 (V)Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 12 (W)Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 13 (X)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 14 (Y)Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’
15 (Z)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 16 (AA)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 17 (AB)Balikukungubagira ne bakugamba nti,
“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
18 (AC)Kaakano olubalama lw’ennyanja
lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
bitidde olw’okugwa kwo.’
19 (AD)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 20 (AE)kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 21 (AF)Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”
Okukungubagira Ttuulo
27 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 3 (AG)Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
“Natuukirira mu bulungi.”
4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
5 (AH)Baakola embaawo zo zonna
mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
ne bakolamu omulongooti.
6 (AI)Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
nga bazaaliiridde n’amasanga.
7 (AJ)Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
8 (AK)Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
9 (AL)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
nga bagula ebyamaguzi byo.
10 (AM)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
era be baakulabisanga obulungi.
12 (AN)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
13 (AO)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
14 (AP)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
15 (AQ)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
16 (AR)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
17 (AS)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
18 (AT)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
21 (AU)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
22 (AV)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
23 (AW)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
wakati mu nnyanja.
26 (AX)Abakubi b’enkasi bakutwala
awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
wakati mu nnyanja.
27 (AY)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 (AZ)Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 (BA)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
ne beevulunga mu vvu.
31 (BB)Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 (BC)Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
eyeetooloddwa ennyanja?
33 (BD)Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 (BE)Kaakano ennyanja ekumazeewo,
mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
bonna babbidde naawe.
35 (BF)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 (BG)Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.