Book of Common Prayer
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 (B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 (C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 (D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 (E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 (F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 (G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 (H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 (I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Okulabula Isirayiri
16 (A)Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 17 (B)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 18 (C)Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 19 (D)Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.
20 (E)“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 21 (F)Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”
22 (G)Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 (H)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.
24 (I)Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 (J)Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 26 (K)Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 27 (L)Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”
Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu
2 (A)Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. 2 (B)Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. 3 (C)Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. 4 Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, 5 (D)ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. 6 (E)Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. 7 (F)Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. 8 (G)Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. 9 (H)Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10 (I)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
24 (A)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (B)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
26 (C)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (D)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (E)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (F)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
32 (G)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 (H)Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
40 (A)“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma. 41 Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu. 42 (B)Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.