Book of Common Prayer
מ Meemu
97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 (G)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (H)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (I)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (J)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (K)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (L)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki
113 (M)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 (N)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (O)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (P)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (Q)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (R)Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 (B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 (C)Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 (D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 (E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 (F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 (G)Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”
Zabbuli ya Asafu.
82 (N)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
ng’alamula bakatonda.
2 (O)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3 (P)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5 (Q)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6 (R)Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7 (S)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8 (T)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
Batabani ba Eri
12 (A)Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda. 13 (B)Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, 14 n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. 15 Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka[a].”
16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 (C)Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18 (D)Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 19 (E)Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 20 (F)Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 21 (G)Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
22 (H)Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 23 N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. 24 Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono. 25 (I)Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda[b] ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.
26 (J)Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote
2 (A)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. 2 (B)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. 3 Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. 4 (C)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
5 (D)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. 6 Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. 7 (E)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? 8 Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? 9 (F)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (G)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”
13 (H)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”
Okwogera kwa Peetero
14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (I)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
17 (J)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (K)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
n’obubonero ku nsi wansi,
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (L)Enjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (M)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
alirokolebwa.’
Okuzuukira n’Okuwasa
27 (A)Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 28 (B)“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29 Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30 Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31 Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32 Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33 Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”
34 Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 35 (C)Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 36 (D)era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 37 (E)Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38 Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39 Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 40 (F)Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.