Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (L)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (O)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (B)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (C)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (D)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (E)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (F)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (G)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (H)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
115 (A)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 (B)Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 (C)Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 (D)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (E)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (F)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (G)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 (H)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 (I)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 (J)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (K)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (L)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 (B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 (C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 (D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 (E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6 (F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
era omwana omuto yalizirabirira.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
abaana baazo banaagalamiranga wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 (G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
Emyaka Olukumi
20 (A)Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe. 2 (B)N’akwata ogusota guli ogw’edda, ye Setaani, n’agusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, 3 (C)n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono.
4 (D)Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. 5 (E)Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka. 6 (F)Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
Setaani Azikirizibwa
7 (G)Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 8 (H)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 9 (I)Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. 10 (J)Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
30 (A)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 31 (B)Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima. 32 (C)Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 (D)“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima. 34 (E)Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe. 35 (F)Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 (G)“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma 37 (H)ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye. 38 (I)N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 39 (J)Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. 40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 (K)“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda. 43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza. 44 (L)Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 (M)“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 46 (N)Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako. 47 (O)Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.