Book of Common Prayer
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (A)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (C)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (E)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (F)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
113 (A)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (F)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Ekisuubizo kya Katonda eri Dawudi
7 (A)Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola. 2 (B)N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.” 3 Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”
4 Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,
5 (C)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu? 6 (D)Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema. 7 (E)Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’
8 (F)“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 9 (G)Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi. 10 (H)Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, 11 (I)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.
“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo. 12 (J)Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 (K)Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 (L)Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 (M)Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 (N)Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”
17 Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.
11 (A)Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, 12 (B)era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; 13 (C)nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 14 (D)eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. 15 Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.
Okuwabula abakkiriza
3 (E)Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2 (F)Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
3 Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. 4 (G)Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 5 (H)n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 6 (I)gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7 (J)Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 8 (K)Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
Maliyamu Akyalira Erisabesi
39 (A)Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40 N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41 Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 42 (B)Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43 Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44 Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45 Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (C)Maliyamu n’agamba nti,
48 (A)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (B)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (C)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (D)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (E)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (F)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (G)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
56 Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.