Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 18

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
(B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
    era amponya eri abalabe bange.

(C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

(F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
    ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
    kubanga yali asunguwadde.
(G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
    Omuliro ne guva mu kamwa ke,
    ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
(H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
    okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
    n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
    mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
    n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
    n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
    abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
    naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
    kubanga yansanyukira nnyo.
20 (S)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (T)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
    ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (U)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
    era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
    era nneekuuma obutayonoona.
24 (V)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 (W)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
    n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (X)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
    n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (Y)Owonya abawombeefu,
    naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (Z)Okoleezezza ettaala yange;
    Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (AA)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
    nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30 (AB)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
    Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
    bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (AC)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
    Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (AD)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 (AE)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
    n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 (AF)Anjigiriza okulwana entalo,
    ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 (AG)Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
    era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
    weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
    obukongovvule bwange ne butanuuka.

37 (AH)Nagoba abalabe bange embiro,
    ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 (AI)Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
    ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
    abalabe bange ne banvuunamira.
40 (AJ)Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
    ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 (AK)Baalaajana naye tewaali yabawonya;
    ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
    ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.

43 (AL)Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
    n’onfuula omufuzi w’amawanga.
    Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 (AM)Olumpulira ne baŋŋondera,
    bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 (AN)Bannamawanga baggwaamu omutima
    ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 (AO)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
    era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 (AP)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
    era akakkanya amawanga ne ngafuga.
    Amponyeza abalabe bange.
48 (AQ)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
    n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (AR)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 (AS)Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
    amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
    eri Dawudi n’eri ezzadde lye.

2 Samwiri 23:13-17

13 (A)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (B)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (C)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (D)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

2 Yokaana

(A)Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. (B)Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.

(C)Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.

(D)Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. (E)Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” (F)Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

(G)Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. (H)Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. (I)Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 10 (J)Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 11 (K)Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

12 (L)Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

13 (M)Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.

Yokaana 2:1-11

(A)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”

(B)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”

(C)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”

(D)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”

Ne basena ne bamutwalira. (E)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”

11 (F)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.