Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
    Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
(B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
    era anaamuwanga omukisa mu nsi;
    n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
    n’amuwonya mu bulumi.

(C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
(D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
    “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
(E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
    naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
    Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

(F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
    nga banjogerako ebitali birungi.
Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
    emukubye wansi tayinza kuwona.”
(G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
    bwe twalyanga,
    anneefuukidde.

10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
    onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
    kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
    ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
    oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.

Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
(E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
(F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
(H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

(I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 (V)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (W)Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 (X)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 (Y)Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Yobu 32:1-10

Eriku Ayogera

32 (A)Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. (B)Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.

(C)Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,

“Nze ndi muto mu myaka,
    mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
    okubabuulira kye ndowooza.
Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
    n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
(D)Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
    nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
(E)Abakadde si be bokka abalina amagezi,
    wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
    nange mbabuulire kye mmanyi.

Yobu 32:19-33:1

19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
    ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
    nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 (A)Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
    era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
    Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
33 (B)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
    ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.

Yobu 33:19-28

19 (A)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
    n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (B)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
    emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (C)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
    n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (D)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
    obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (E)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
    amuwolereza, omu ku lukumi,
    okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (F)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
    ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
    mmusasulidde omutango,’
25 (G)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
    era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (H)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
    Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
    Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (I)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
    Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
    naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (J)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
    kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

Ebikolwa by’Abatume 13:44-52

44 Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 (A)Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 (B)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 (C)Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,

“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
    olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”

48 Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.

49 Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 (D)Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 (E)Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.

Yokaana 10:19-30

19 (A)Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 (B)Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”

21 (C)Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

22 Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 (D)Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 24 (E)Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”

25 (F)Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 26 (G)Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 (H)Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 28 (I)Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 29 (J)kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 30 (K)Nze ne Kitange tuli omu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.