Book of Common Prayer
Zabbuli ya Asafu.
50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 (B)Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 (C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 (D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 (E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 (F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
7 (G)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8 (H)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9 (I)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (J)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (K)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
14 (L)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (M)Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
16 (N)Naye omubi Katonda amugamba nti,
“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
17 (O)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (P)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
19 (Q)Okolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (R)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (S)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (F)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (G)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
60 (O)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2 (P)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3 (Q)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
5 (R)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6 (S)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7 (T)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8 (U)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (V)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
11 (W)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (X)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 (C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 (D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
6 (E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 (F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 (G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 (H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12 (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13 (L)Kubanga Mukama ajja;
ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
n’abantu bonna abalamule mu mazima.
29 (A)Yobu n’ayongera okwogera nti,
Obutukuvu bwa Yobu
31 (A)“Nakola endagaano n’amaaso gange;
obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
2 (B)Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
3 (C)Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
4 (D)Amakubo gange gonna tagalaba,
era tamanyi ntambula yange?
5 (E)Obanga natambulira mu bulimba
era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
6 (F)leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
amanye obutuukirivu bwange.
7 (G)Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
8 (H)kale nsige, omulala abirye,
weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
9 (I)Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 (J)kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
n’abasajja abalala beebake naye.
11 (K)Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12 (L)Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”
Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo
13 (M)“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,
bwe banninaako ensonga,
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15 (N)Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?
16 (O)“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
era obanga nakaabya nnamwandu;
17 (P)obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
atalina kitaawe n’atalyako,
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 (Q)Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 (R)obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 (S)kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 (T)Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.
Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi
15 (A)Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” 2 (B)Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. 3 (C)Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. 4 (D)Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.
5 Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.
6 Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. 7 Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. 8 (E)Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. 9 (F)Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. 10 (G)Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? 11 (H)Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”
17 (A)Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 (B)Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 (C)Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 (D)Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 (E)Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 (F)Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24 (G)Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 (H)Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27 (I)Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
28 (J)Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.