Add parallel Print Page Options

14 (A)Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu[a] ey’oku bigere byammwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:14 Omuntu okukunkumulira omulala enfuufu y’ebigere bye, kaali kabonero akaakolebwanga Abafalisaayo nga bava mu bitundu bannamawanga gye baabeeranga, ebyalowoozebwanga okuba ebitali birongoofu.

(A)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”

Read full chapter

14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza.

Read full chapter

19 (A)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde.

Read full chapter

Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya

21 (A)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya,

Read full chapter

11 (A)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna.

Read full chapter