Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2 (B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
era anaamuwanga omukisa mu nsi;
n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
n’amuwonya mu bulumi.
4 (C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5 (D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6 (E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7 (F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
nga banjogerako ebitali birungi.
8 Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
emukubye wansi tayinza kuwona.”
9 (G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.
10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 (B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 (C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 (D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
5 (E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 (F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 (G)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
mu nnaku ez’edda ezaayita.
2 (B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
n’okulaakulanya bajjajjaffe.
3 (C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
4 (D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
awa Yakobo obuwanguzi.
5 (E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
6 (F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
7 (G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
n’oswaza abo abatuyigganya.
8 (H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
9 (I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
n’otobaako ky’oganyulwa.
13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
newaakubadde nga tetukwerabidde,
wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
n’otuleka mu kizikiza ekikutte.
20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
Abayisirayiri balinnyibwa ku nfeete mu kibuga Ayi
7 (A)Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.
2 (B)Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
3 Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” 4 (C)Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde 5 (D)okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
6 (E)Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde. 7 (F)Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono! 8 Ayi Mukama, Isirayiri adduse abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano! 9 (G)Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”
10 Mukama n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka? 11 (H)Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba. 12 (I)Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
13 (J)“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.
8 (A)Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. 9 (B)Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 10 (C)Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11 (D)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (E)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (F)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (G)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.
Gesusemane
36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 (A)N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 (B)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
39 (C)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
40 (D)N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 (E)Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
45 (F)Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.